Bbomu esse abantu 8 mu ggwanga erya Somalia mu kibuga Mogadishu, ekirese abannansi nga bali mu kutya enkya ya leero.
Abantu 17 banyiga biwundu mu kiseera kino, omuli abaana 13 abalumiziddwa, nga bali ku ssomero lya Mucassar mu disitulikiti y’e Hodan okumpi ne bbomu webwatukidde.
Omutujju, ‘Lumira mwoyo’ asobodde okuvuga emmotoka omuteekeddwa bbomu okulumba Konvoyi y’ekitongole ky’obwannanyi ekikuuma era mu kubwatuka kwe kutta abantu ssaako n’abaana b’esomero.
Wabula abatujju bakabinja ka al-Qaeda okuva mu kabinja ka al-Shabab, bewaanye okulemberamu okusindika bbomu, esobodde okutta abantu.
Mu kiseera kino ebitongole ebikuuma ddembe, byongedde okunyweza ebyokwerinda mu kibuga Mogadishu, okuyambako mu kutangira embeera y’emu okuddamu.