Kyaddaki Minisita wa ssayansi ne ttekinologiya Dr. Monica Musenero alambuludde ku mmese emu (1) eyaguliddwa ssente obukadde 8 okuyambako mu kunoonyereza kwabwe.

Minisita Musenero, abadde mu kakiiko ka Palamenti akaatekebwawo okumunoonyerezaako, ku by’okubulankanya ensimbi.

Omubaka wa Palamenti owa Monicipaali y’e Ntungamo Yona Musinguzi, yasaba Palamenti okunoonyereza ku Minisita Musenero ku by’okuba n’okubulankanya ensimbi, biriyoni 31, ezamuweebwa okunoonyereza, okuteekawo eddagala erijjanjaba n’erigema Covid-19.

Amangu ddala amyuka sipiika wa Palamenti Annet Anita Among, yateekawo akakiiko okunoonyereza ku Minisita Musenero ku nsimbi ezoogerwako n’okulaga watuuse ne ttiimu ye ku nsonga z’eddagala.

Wabula mu kakiiko, omubaka omukyala owe Butambala, munna NUP Aisha Kabanda asabye Minisita Musenero okutangaza akakiiko ku mmese, eyaguliddwa obukadde 8, bwe kiba nga kye baliko si kubiramu ssente.

MP Kabanda

Mu kwanukula, Musenero agambye nti emmese eyaguliddwa obukadde 8, yanjawulo nnyo ku mmese ezabuligyo eziri mayumba g’abantu.

Agamba nti emmese eyaguliddwa, zakoleddwa mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19, okuyambako bannasayansi mu kunoonya eddagala.

Minisita Musenero

Musenero agamba nti Uganda eri ku siteegi ya 7 mu kuvumbula eddagala lya Covid-19 nga wadde emmese emu ya bukadde 8, bakyetaaga emmese 200 okutambuza obulungi emirimu.

Wabula Prof. Enock Matovu okuva ku Yunivasite e Makerere mu Dipatimenti y’ebisolo, agamba nti emmese zakuva mu ggwanga erya America nga China, baalemereddwa.

Prof. Matovu abadde awerekeddeko Musenero mu kakiiko, agambye nti okufulumya emmese, wetaaga Layisinsi era y’emu ku nsonga lwaki mu Uganda, tebazirina.

Ebigambo bya Musenero ne Polof Matovu, akola nga ssentebe w’akakiiko Tony Awany amatidde nti emmese ezogerwako si zabuligyo, nga zino ezirya engoye z’abantu.

Gye buvuddeko, Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni bwe yali avumirira abasojja Musenero yagamba nti ye mukazi gw’amanyi atambulira mu musana era akoleredde ennyo ssaayansi okulaba ng’akula mu Uganda n’agamba nti abataataaganya omukyala oyo ssinga kinaazuulibwa nti bamwogerako bya swakaba ajja kubakolako.

Musenero ye agamba nti  zino ntalo za byabufuzi n’agamba nti ye mwetegefu okuwuliriza bye bamulumiriza naye akozese tekinologiya okubijaabulula.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=2_3hFKHbJFM