Malaaya atabudde abasajja nga bali mu bbaala, ekivuddeko omusajja omu okuttibwa mu disitulikiti y’e Buyende.
Adiso Madigo myaka 30 abadde omutuuze we Kalwaala mu ggombolola y’e Nkondo, yattiddwa.
Wadde omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni yalagira ebbala okusigala nga nzigale wakati mu kulwanyisa Covid-19, Madigo okuttibwa, kivudde ku butakaanya nga bali mu bbaala mu kiro ekikeseeza olwaleero.
Okusinzira kw’omu ku bakozi mu bbaala agaanye okwatuukiriza amannya ge, abasajja babiri (2) omuli omugenzi Madigo ne Ben Gidonyi, baaguze Malaaya nga buli omu, yamuwadde ssente shs 5000.
Nga bakyali mu bbaala, Malaaya ali mu gy’obukulu 24 yabadde abakyanga bombi nga bonna bamunywegera wakati mu kunywa omwenge.
Wabula Gidonyi bwe yabadde agezaako okutwala Malaaya, Madigo kati omugenzi yavuddeyo okumulemesa kuba naye, yabadde amaze okuwaayo akasente ke nga yesuunze okumulambuza ebyalo, okumutuusa mu kibuga Kandahar ekya Afghanistan.
Okusika omuguwa, kyavuddeko okulwanagana, ekyembi Madigo yasindikiddwa ku ttaka era omutwe gwatuukidde ku mayinja.
Lovisa Namwase, omu ku batuuze agamba nti Madigo yafudde, bakamutuusa mu ddwaaliro nga yenna atonnya musaayi ate Gidonyi olw’okutya, yeetutte ku kitebe kya Poliisi e Buyende ku misango gy’okutta omuntu.
Wabula Michael Kasadha, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Busoga North, agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza ku nsonga eyo.
Ate entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Namukooge mu ggoombolola y’e Mazuba mu disitulikiti y’e Namutumba, ssentebe w’ekyalo George Tulilaba bw’attiddwa, omulambo gwe ne gusuulibwa okumpi ne ssabo ku kyalo ekiddako Igelela.
Omulambo gwa ssentebe, gulabiddwa abaana abakedde okukima amazzi, enduulu kwe kusanira ekyalo.
Amangu ddala abatuuze bayitiddwa omuli n’abakulembeze ku kyalo ssaako ne Poliisi, okwekeneenya engeri ssentebe gy’attiddwamu.
Omulambo, gusangiddwako ebiwundu ku bulago nga kiraga nti omusaayi gwalembekeddwa, ekitabudde abatuuze nga bagamba nti yasaddakiddwa.
Aba famire nga bakulembeddwamu Aggrey Mulowozo, bagamba nti ssentebe yavudde awaka akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu ng’ali ne banne ne bagenda mu katawuni, wabula teyakomyewo okutuusa okutegeezebwa nti yattiddwa.
Wabula Poliisi eriko abasawo b’ekinnansi bekutte era okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Busoga East Diana Nandawula, okunoonyereza kutandikiddewo.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=sPRwAIJYR5w