Mutabani wa ssentebe w’ekyalo e Kasubi Zzooni e Lubaga mu Kampala, Kenneth Bbosa Kityo, aziddwa ku limanda okutuusa nga 6, omwezi guno ogwa Desemba, 2021.
Bbosa myaka 40, ali ku misango gy’okusobya ku mwana atanetuuka nga 10, November, 2020.
Kigambibwa omwana yamusaanga mu kkubo, bwe yali ava ku kabaga ka mazaalibwa ga mukwano gwe, okumusobyako.
Okuva nga 10, November, 2020, omwana lwe yasobezebwako, atambula awenyera ssaako n’okusiiba mu maziga, ekyongedde okusindika famire okunoonya obwenkanya.
Wabula mu kkooti akawungeezi ka leero, omulamuzi Miriam Akello azzeemu okusindika Bbosa ku limanda e Kitalya nga kivudde ku ludda oluwaabi, okufundikira okunoonyereza.
Oluvudde mu kkooti, aba famire y’omwana, bagamba nti sibakutuula okutuusa nga bafunye obwenkanya.
Ate omusajja eyakwatibwa ku misango gy’okusobya ku mwana omuto, ayimbuddwa, bw’asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti esookerwako ku Buganda Road enkya ya leero.
Akampa Brain myaka 27 nga mutuuze we Kalerwe e Kawempe mu Kampala, asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Miriam Okello ku misango gy’okusobya ku mwana myaka 17 mu November, 2020.
Mu kkooti, Akampa yegaanye omusango era amangu ddala, omulamuzi Okello akkiriza okusaba kwe, okweyimirirwa.
Omulamuzi Okello amulagidde, okusasula ssente emitwalo 50 ez’obuliwo ate abamweyimiridde ababiri (2) obukadde 2 buli omu ezitali za buliwo.
Mungeri y’emu Akampa alagiddwa okudda mu kkooti nga 11, Janwali, 2022.