Abantu 23 bafudde oluvanyuma lwa bbaasi eyabadde ebatwala ku mbaga okugwa mu mugga mu ggwanga erya Kenya.

Okusinzira ku vidiyo, bbaasi yatwaliddwa amazzi oluvanyuma lwa ddereeva okwagala okuyita mu mazzi ku lutindo lw’omugga Enziu, mayiro 125 okuva mu kibuga Nairobi.

Bbaasi yabadde epangisiddwa okutwala abayimbi b’ekkanisa ku mukolo gw’embaga.

4 ku baafudde baana abato, abantu 12 baataasiddwa, okusinzira ku batuuze.

Mu kiseera kino omuwendo gw’abantu abaabadde mu baasi tegumanyiddwa.

Kigambibwa ddereeva yabadde tamanyi bulabe buli ku mugga era kigambibwa gwe gwabadde omulundi gwe ogusooka okugenda mu kitundu ekyo ekya Mwingi, e Kitui.

Gavana we Kitui Charity Ngilu agamba nti akabenje kano kaabaddewo olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga ku makya.

Mungeri y’emu agamba nti wadde emirambo 23 gizuuliddwa, kigambibwa mu bbaasi mubadde abantu bangi wabula okunoonya emirambo kuddamu enkya ya leero ku Ssande.

Abamu ku bannansi bagamba nti enkuba efudeemba ennaku zino, y’emu ku nsonga lwaki emigga gyeyongedde okubooga mu bitundu bye Kenya ebyenjawulo.

Vidiyo!

Akabenje e Kenya

Ate omukyala akwattiddwa ku misango gy’obutemu oluvanyuma lw’okwokya muggya we myaka 23 mu bitundu bye Ogun.

Kehinde Abdul Wasiu myaka 32 nga maama w’abaana basatu (3) yakwattiddwa oluvanyuma lw’okuyuwa amafuta ga petulooli ku mufaliso gwa bba.

Tosin Olugbade omuliro gwamwokezza era yafunye ebiwundu ekyavuddeko okufa kwe.

Omusajja Fatai Olugbade, agamba nti baludde nga balina obutakaanya n’omukyala era abadde yamusuubiza okumutta olw’okufuna omukyala omulala.

Omusajja agamba nti oluvanyuma lw’enju okukwata omuliro, Tosin Olugbade omuliro gwamwokezza nnyo era olw’embeera gye yabaddemu, yabadde alina okufa.

Ku Poliisi, Kehinde Abdul Wasiu akkiriza emisango kyokka agamba nti naye akyewunya lwaki yakikola.

Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Ogun mu ggwanga erya Nigeria, DSP Abimbola Oyeyem agamba nti Poliisi eyongedde amaanyi mu kunoonyereza okuzuula ekituufu, omusango okutwalibwa mu kkooti.

Mu ggwanga erya Nigeria, okutwalira amateeka mu ngalo kweyongedde nga kivudde ku bwenzi.

Wabula ebitongole byokwerinda byongedde okusaba bannansi okweyambisa ebitongole ebikuuma ddembe okusinga okwenyigira mu bitundu ebimenya amateeka.