Omusirikale mu ggwanga erya Kenya asse mukyala we ssaako n’abantu bataano (5) oluvanyuma naye ne yetta mu katawuni k’e Kabete e Kiambu nga wakafuluma ekibuga Nairobi.
Police constable Benson Imbasi, yalagidde mukyala we, aggalewo edduuka badde awaka wabula nga bukya, abatuuze bawulidde masasi.
Oluvanyuma lw’okutta omukyala, yafulumye ennyumba, naakuba amasasi abantu musanvu (7), abantu bataano (5) baafiriddewo ate babiri (2), baddusiddwa mu ddwaaliro ekkulu erya Kenyatta nga bali mu mbeera mbi.
Amangu ddala ng’amazze okutta abantu, yekubye essasi ku bulago era afiiriddewo.
Poliisi egamba nti omusirikale waabwe asobodde okweyambisa emmundu ekika kya AK-47 okutta abantu n’okwetta.
Abattiddwa, batwaliddwa mu ddwaaliro okwongera okwekebejjebwa.
Kigambibwa abamu ku battiddwa, mwe muli aba bodaboda abakeera okutambuza emigaati mu kitundu ekyo.
Abamu ku batuuze bagamba nti omusirikale Imbasi aludde ng’alumirizza mukyala we ategerekeseeko erya Carol okwagala abasajja abalala era kiteeberezebwa y’emu ku nsonga lwaki amusse ssaako n’abantu abalala olw’obusuungu.