Abasomesa 4 ku Yunivasite “lecturer” basimbiddwa mu kkooti ku misango gy’okuwa abayizi abagudde makisi singa bakkiriza okwegadaanga nabo.
Mu kkooti, baguddwako emisango egy’enjawulo omuli okusoosowaza akaboozi ku ky’okuyisa abayizi, okusosola abayizi abalenzi ne basembeza abawala nga basuubira omukwano n’okutyoboola eddembe ly’abaana abawala.
Mu kkooti gye basimbiddwa akawungeezi ka leero, bonna begaanye emisango.
Abasomesa bano, okuva Hassan I University, mayiro 50 okuva mu kibuga Casablanca mu ggwanga erya Morocco, batuusiddwa mu kkooti wakati mu kuswala era kigambibwa kigendereddwamu okutatana ekitiibwa kya Yunivaasite.
Kinnajjukirwa nti mu September, 2021, waliwo mesegi za WhatsApp ezaali zitambula ku mikutu migatta bantu ng’omuyizi omuwala akkiriza okuwa omusomesa amatwale, atabaale mu ngeri y’okusinda omukwano bwe kiba ng’emu ku ngeri gy’ayinza okumuyamba okumuwa makisi, asobole okutikkirwa.
Mu ggwanga erya Morocco, kigambibwa bangi ku bayizi batikiddwa nga bakkiriza okwebaka ne basomesa baabwe wabula ensonga zibadde zikoma ku Yunivasite ez’enjawulo n’okangavula abasomesa, nga tezigenda mu kkooti. Waliwo, Bannabyanjigiriza abagamba nti okutwala abasomesa mu kkooti ku misango egyo, kigenda kutta omutindo gwa Yunivasite mu ggwanga n’ekitiibwa ky’abasomesa.