Pasita Aloyious Bugingo owa House of Prayer Ministries International e Makerere Kikoni mu Kampala ne kabiite we Suzan Makula Nantaba, batwaliddwa mu kkooti, ku misango gy’okutekateeka emikolo gy’okwanjula mu ngeri amanya amateeka.

Mu kkooti, atwaliddwayo munnamateeka Male Mabirizi, era agamba nti kimenya amateeka Pasita Bugingo, okuddamu okumwanjula ate nga musajja mufumbo.

Bugingo ne Makula mu laavu

Mabirizi agamba nti Bugingo, alina mukyala we Teddy Naluswa Bugingo mu mateeka nga kimenya amateeka Makula, okwagala okubba omusajja, okumwanjula eri abazadde ate ng’alina mukyala we.

Makula ne Bugingo mu kwanjula

Mu kkooti, Mabirizi agamba nti emikolo gya Makula okwanjula Bugingo olunnaku olw’eggulo e Bwerenga, kyabadde kumenya amateeka era y’emu ku nsonga lwaki addukidde mu kkooti e Ntebbe.

Male Mabirizi

Mabirizi agamba nti Bugingo okwanjulwa omukyala omulala ate nga musajja mufumbo, kikontana n’akawayiro 43 mu tteeka ly’obufumbo (Marriage Act) mu Uganda era singa omusango gumukka mu vvi (Bugingo ne Makula), boolekedde okusibwa emyaka 5.

Bugingo ne Naluswa

Bugingo alina abaana 4 ne Teddy mu myaka 29 kyokka mu kiseera kino ali mu kkooti ayagala bawukane kuba ye ssi musanyufu mu bufumbo era kati  yesuunga kukuba  Suzan Magala mbaga.