Ekitongole ekirondoola eddembe ly’abaana ekya National Children Authority, kivuddeyo okuwakanya ekibonerezo ekyawereddwa ssentebe w’eggoombolola y’e Malongo mu disitulikiti y’e Lwengo ku misango gy’okwekobaana okusobya ku mwana omuto.

Sabiiti ewedde, omulamuzi wa kkooti e Masaka Charles Yeteise, yasingisizza Simeo Ssenkyama emisango gy’okwenyigira mu nteseganya z’okusobya ku mwana omuto era yasabiddwa fayini ya ssente miriyoni 2 oba okusibwa omwaka mulamba.

Okusinzira ku kkooti, Ssenkyama yasobola okweyambisa obuyinza bwe nga ssentebe w’eggoombolola, okulemberamu enteseganya z’okufumbiza omwana omuto ali mu gy’obukulu 12 ku musajja eyali amusobezaako.

Kigambibwa ssentebe Ssenkyama yafuna enguzi ya ssente 1, 200,000 mu 2017, omusajja eyasobya ku mwana omuto, namutika n’olubuto, obutasibwa, wabula okuteesa n’abazadde mu offiisi ye, okutwala omwana mu butongole.

Mu nteseganya, kigambibwa omusajja eyasobya ku mwana, yakkiriza okuwaayo ssente ezaali zimusabiddwa, okutwala omwana omuto, ku myaka, 12 nga mukyala we, ayongere okumubangula mu nsonga z’omu kisenge.

Wabula ab’ekitongole ky’abaana ekya National Children Authority nga bakulembeddwamu ssenkulu Martin Kiiza, si basanyufu n’ekibonerezo ekyawereddwa ssentebe Ssenkyama eky’okuwa fayini ya miriyoni 2 oba okusibwa omwaka mulamba.

Kiiza agamba nti balina okulwanyisa ebikolwa byonna eby’okutyoboola eddembe ly’abaana, nga kyewunyisa omusajja eyakulemberamu enteseganya z’okusobya ku mwana omuto, okuva mu kkomera mu ngeri y’okusaaga.

Asuubiza okweyongerayo, eri abakulu mu kitongole ekiramuzi n’ekitongola kya Poliisi okuzuula ensobi, weyavudde.

Eddoboozi lya Martin Kiiza

Mungeri y’emu Kiiza agamba nti Poliisi ekyalemeddwa okukwata omusajja sseduvuto eyasobya ku mwana omuto.

Omusajja akyaliira ku nsiko, era Kiiza agamba nti Poliisi eyongedde okulaga obunafu ku nsonga ezo.

Mu Uganda, abaana abawala abangi basobezeddwako naddala mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19 era bangi ku basajja baliira ku nsiko ku misango gy’okusobya ku baana.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=IcbAeD73Tsw&t=98s