Kkooti ejjulirwamu Kampala eragidde ekitongole ky’amakkomera okuyimbula omusajja Francisco Muhairwe , omutuuze we Kahungye Cell mu disitulikiti y’e Isingiro abadde ku misango gy’okusobya ku mwana omuto.

Abalamuzi basatu (3) nga bakulembeddwamu Fredrick Egonda-Ntende, Catherine Bamugemereire ne Christopher Madrama bagamba nti emyaka 13, Muhairwe gy’amaze mu kkomera, gimala omuntu yenna okubonerera.

Muhairwe yasobya ku mwana nga 10, December, 2007 ku myaka 12 era mu nnaku 2 zokka yakwattibwa.

Nga 4, January, 2008, yatwalibwa mu kkooti y’omulamuzi e Mbarara ku misango gy’okusobya ku mwana omuto, kwe kusindikibwa mu kkooti enkulu.

Nga 26, June, 2011, Muhairwe yasingisibwa omusango, kwe kusindikibwa mu kkomera okumala emyaka 20.

Wabula Muhairwe ng’ayita mu munnamateeka we Sam Dhabangi yaddukira mu kkooti ejjulirwamu ng’awakanya ekibonerezo ekyamuweebwa.

Agamba nti wadde yasobya ku mwana omuto, omulamuzi okumusiba emyaka 20, bw’ali busuungu.

Abalamuzi ba kkooti ejjulirwamu nga bakulembeddwamu omulamuzi Fredrick Egonda-Ntende bagamba nti omulamuzi yakola ensobi bwe yali asalira Muhairwe ekibonerezo kuba ekibonerezo kyali kisukkiridde obunene.

Bagamba nti Muhairwe gwe gwali omulundi gwe ogusooka okusobya ku mwana.

Abalamuzi era bagamba nti ebbanga ly’emyaka 12, Muhairwe gy’amaze mu kkomera, y’emu ku nsonga lwaki balagidde ekitongole ky’amakkomera okumuyimbula.

Wabula abamu ku Bannakampala bagamba nti omusajja yenna singa asobya ku mwana omuto, aba agwanira kusibwa mayisa.

Mu Uganda, ebikolwa by’okusobya ku baana abato byeyongedde nnyo n’okusingira ddala mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19 era bangi ku baana abafunye embutto.

Gavumenti egamba nti wadde abaana abafunye embutto ssaako n’okuzaala, balina omukisa okudda ku massomero nga 10, January, 2022, nga bafunye omukisa omulala okudda ku massomero.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=f6lB8uUTZH8