Gavumenti eri mu ntekateeka okusomesa abantu ku byalo n’okubangula abasomesa okuyambako mu kusomesa abaana ku nsonga z’okwegatta mu bavubuka.

Entekateeka eno, ekulembeddwamu Minisitule y’ekikula ky’abantu, emirimu ssaako n’okulakulanya abantu.

Okusinzira ku Dr. Daniel Byamukama, akulira eby’okulwanyisa Mukenenya mu kitongole kya Uganda AIDS Commission, wakati mu kulwanyisa Covid-19 ng’amassomero maggale, abaana abali waka, okunoonyereza kulaga nti abazadde balemeddwa okubangula abaana ku nsonga z’okwegata, ekivuddeko bangi ku baana abato, okufuna embutto.

Dr. Byamukama agamba nti abazadde okuswala okwogera n’abaana ku nsonga z’okwerigomba, kivuddeko bangi ku baana abawanduse mu massomero n’abali mu massomero, okufuna embutto ku myaka emito ssaako n’abalenzi okuzaala nga tebetegese.

Abasinze okufuna obudde okwerigomba bali wakati w’emyaka 19 – 25 era bangi kati bali mbutto.

Mungeri y’emu agambye nti olw’abaana obutafuna kulambikibwa kw’abazadde ate nga bali myaka, egisikirizibwa okwegata, kivuddeko ne siriimu okweyongera mu baana abato.

Dr. Byamukama agamba nti okunoonyereza kulaga nti siriimu yeyongedde nnyo ku baana abawala wakati w’emyaka 15 – 19 ssaako na 20 – 24 ate nga n’abo beyongedde okubutambuza, nga kivudde ku bazadde obutafaayo okulambika abaana.

Wabula abazadde bagamba nti okuwa abaana eddembe erisukkiridde, kivuddeko abaana okweyongera okwonooneka.

Bagamba nti obuseegu bweyongedde ku mitimbagano kyokka abaana beyongedde okweyambisa emitimbagano, ekivuddeko ebikolwa ebikyamu mu baana okweyongera.

Abamu bagamba nti abazadde okulemwa okuwa abaana abawala ebikozesebwa nga bali mu nsonga, y’emu ku nsonga lwaki abaana abawala begumbulidde okwegata ku myaka emito.