Omusajja asse mukyala we, ku bigambibwa nti abadde asukkiridde obwenzi, ekirese abatuuze nga bali mu kiyongobero.

Wilberforce Omondi ali myaka 30 nga mutuuze ku kyalo Dabani, yanoonyezebwa ku by’okutta kabiite we Jackie Nandera myaka 25, abadde omutuuze ku kyalo Sibarara mu ggoombolola y’e Dabani mu disitulikiti y’e Busia.

Omondi asangiriza mukyala we ng’ali n’omusajja omulala David Ouma mu Katawuni k’e Mayombe era amangu ddala, amusise namutwala ku kisaawe ky’essomero kya Mayombe primary school gy’amuttidde.

Abatuuze webatuukidde okutaasa, ng’omukyala afumitiddwa akambe ku kifuba, obulago, mu lubuto, omugongo era ng’asaliddwako ebitundu by’ekyama.

Omu ku batuuze abadde mukwano gw’omugenzi Teddy Taaka, agamba nti bakubye essimu okutaasa mukyala munaabwe, wabula teyasobodde kukwata ssimu ye.

Eddoboozi lya Teddy

Ate abatuuze bagamba nti omusajja n’omukyala, baali bayawukana kyokka olw’omusajja okuba ne bubba ku mukyala gwe yalekawo, y’emu ku nsonga lwaki yamusse.

Abatuuze bagamba nti omukyala abadde akyagaanye okuddira omusajja olw’empisa ze embi.

Abatuuze ku ttemu

Mu kiseera kino, omutemu Omondi aliira ku nsiko ku misango gy’okutta omuntu nga ne Poliisi eyungudde basajja baayo, okumunoonya.

Dida Byaruhanga, addumira Poliisi mu disitulikiti y’e Busia agamba nti ku kitebe kya Poliisi e Busia, fayiro y’omusango gw’obutemu eguddwawo.

Eddoboozi lya Byaruhanga

Omulambo gugiddwawo Poliisi wakati mu batuuze okulukusa amaziga era gutwaliddwa ku ddwaaliro ekkulu e Busia okwekebejjebwa.