Ebitongole ebikuuma ddembe okuli Poliisi n’amaggye bitandiise okunoonyereza ekivuddeko omukuumi Ausi Lubandi myaka 23 okuttibwa.
Lubandi okuva mu kitongole ky’obwannanyini ekikuumi ekya JAG Security Group, nga yazaalibwa mu disitulikiti y’e Buyende, akubiddwa amasasi nga busasaana enkya ya leero ku GP Global petrol station ku luguudo lwa Jinja – Kamuli gy’abadde akuuma.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira – Jinja, James Mubi, Poliisi mu kwekebejja ekifo, bazudde ebisosonkole bya masaasi bibiri (2), emmundu etwaliddwa, ekyongedde okutiisa abatuuze.
Mubi agamba nti Poliisi n’amaggye, batandiise okunoonyereza okuzuula abazigu abenyigidde mu kikolwa ekyo, kwe kulabula abatuuze okuddamu okuwa ekitiibwa essaawa za kafyu.
Mungeri y’emu agamba nti emmundu etwaliddwa abazigu, mubaddemu amasasi 5 nga n’omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Jinja okwekebejjebwa.
Mubi era agamba nti wakati mu kulwanyisa Covid-19 okweyongera okutambula mu nnaku zino eza Kulisimansi n’okuyingira omwaka omuggya ogwa 2022, buli muntu ateekeddwa ogondera ebiragiro, omuli okwambala masiki n’abalina ebidduka, okwewala okumenya amateeka.
Mungeri y’emu Poliisi n’amaggye gali mu kunoonya akabinja k’abantu abenyigidde mu kutta omusirikale w’ekitongole ky’amakkomera.
Peter Kiplangat, abadde amanyikiddwa nga Fred Mwanga akubiddwa amasasi ku ssaawa nga 3 ez’ekiro ekikeseza olwaleero ku Lwokutaano ku kyalo Camp Swahili Chini mu Monicipaali y’e Moroto.
Micheal Longole, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Karamoja agamba nti okunoonya abatemu kutandikiddewo.
Longole agamba nti omugenzi abadde akolera ku kkomera lya Gavumenti erya Moroto.
Agamba nti okutta Kiplangat kwabadde kuteketeeke kuba mu kitundu abadde alinamu muganzi we.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=14RVXYk319o