Abamu ku batembeyi mu Kampala, abatundira ku nguudo bakedde mu ddukaduka, abakwasa amateeka mu kitongole ki Kampala Capital City Authority (KCCA), we bakedde okubagumbulula, okubaggya ku nguudo ne ku mbalaza z’ebizimbe.
Ekikwekweeto, kitandikidde ku luguudo lwa Ben Kiwanuka ne batambula nga badda ku Mini Price, nga balina emmotoka kwe bateeka ebintu byabatembeyi wadde abamu, basobodde okudduka n’ebintu byabwe.
Nga batekateeka okutambula, abatembeyi bategeezeddwa ku kizindaalo nti balina okudda mu katale ka Usafi, nga bonna balina okuva ku nguudo ssaako ne mbalaza z’ebizimbe.
Mungeri y’emu, bategeezeddwa nti abasuubuzi abalina amadduka, bawa omusolo ssaako n’ebintu ebyenjawulo nga balina, okubakkiriza okutambuza emirimu gyabwe.

Abamu ku batembeyi abatwaliddwako ebintu byabwe, bagamba nti embeera embi n’obutaba na Kapito, y’emu ku nsonga lwaki beyongedde obungi ku nguudo.
Abamu balemeddeko nga bagamba nti obutaba na mirimu, eky’okutwala emmaali yaabwe, tekigenda kubalemesa kudda ku nguudo kwe kusaba omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni, okubakkiriza okusigala ku nguudo z’omu Kampala.
Ate ku luguudo lwa Kafumbe Mukasa mu bitundu bya Owino mu Kisenyi, obuyumba bwonna obw’emmere, okusiika chipusi, enkoko, obunyama, lumunde bumenyeddwa.
Aba KCCA bagamba nti buyinza okuvaako amasanyalaze, agayinza okwokya ekibuga era abasuubuzi basigadde mu maziga.









Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=hWY3mRknJoY