Kkooti esookerwako e Makindye eragidde ebitongole ebikuuma ddembe okuyimbula bunnambiro, omuwandiisi w’ebitabo Kakwenza Rukirabashaija eyakwatibwa sabiiti ewedde.

Okusinzira ku kiwandiiko kya kkooti ekifulumiziddwa omulamuzi wa kkooti esookerwako Irene Nambatya, akkiriza okusaba kwa bannamateeka ba Kakwenza, Eron Kiiza, Nalukoola Luyimbazi ne Samuel Wanda eky’okuyimbula omuntu waabwe.

Mu kkooti, bannamateeka bagambye nti, Kakwenza bukya akwattibwa sabiiti ewedde, Poliisi eremeddwa okumutwala mu kkooti okusukka essaawa 48, ekintu ekimenya amateeka mu kutyoboola eddembe ly’obuntu.

Wabula wadde omulamuzi Nambatya alagidde Poliisi okuyimbula Kakwenza, munnamateeka Kiiza agamba nti balina okutya nti Poliisi eyinza okuziimula ekiragiro kya kkooti.

Mungeri y’emu agambye nti ebiriwo, biraga nti Kakwenza yakubiddwa nnyo era mbu y’emu ku nsonga lwaki batya okumutwala mu kkooti.

Kakwenza yakwattiddwa ku misango gy’okuvuma omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ssaako ne mutabani we era omuddumizi w’eggye ly’okuttaka Lieutenant general Muhoozi Kainerugaba, ebigambo ebiyinza okunyiza omuntu yenna.

Wabula omwogezi w’ekitongole kya bambega, Charles Twine agamba nti Kakwenza okweyambisa ‘Twitter’ okuvuma Pulezidenti Museveni nga 24, December, 2021 ne Lt Gen. Muhoozi nga 26, December, 2021, y’emu ku nsonga lwaki yakwattiddwa.