Poliisi mu ggwanga erya Kenya eyongedde amaanyi mu kunoonyereza ku kyavuddeko omusajja myaka 42 okufiira mu kaboozi.
Erastus Madzomba yafa sabiiti ewedde ku Lwokusatu, nga 29, December, 2021 nga yali mu kaboozi ne muganzi we Elgar Namusia ali mu gy’obukulu 22 mu loogi za Broadway ku kyalo Kawangware mu kibuga Nairobi.
Kigambibwa omusajja yali yakamala mu laavu n’omuwala ebbanga lya sabiiti 2 zokka nga bagenze mu loogi omulundi ogusooka.
Wabula mu kunoonyereza, abamu ku bakozi ku loogi abagaanye okwatuukiriza amannya gaabwe, bagambye nti omukyala yakuba omulanga kyokka bagenda okutuuka mu kisenge, ng’omukyala asobeddwa.
Omusajja yafa wakati mu kusinda omukwano, wakati w’eddakika 5 ku 7, era omuwala agamba nti, omusajja yasirika omulundi gumu, okutuusa lwe yafa.
Omu ku basawo, abakola alipoota ku musajja, agamba nti omugenzi yafa nga kivudde ku mutima ogwesiba wakati mu kwesa empiki nga kiteeberezebwa yali aliko byanywedde.
Mu kiseera kino Poliisi, etandiise okunoonyereza okuzuula ekyavaako omusajja omutima okwesiba.
Mungeri y’emu Poliisi egamba nti mu kwekebejja ensawo y’omusajja temwasangiddwamu ssente yonna, nga kigambibwa omuwala alina okulaga Poliisi ani yakwata mu nsawo z’omusajja oluvanyuma lw’okufa.
Omusajja ono Madzomba, yali musajja mufumbo alina amaka n’abaana, era okufiira mu loogi, kyewunyisa bangi ku batuuze ssaako ne famire ye.