Minisita Katumba abyogedde!
Kyaddaki Gavumenti ekirizza okuggyawo Kafyu sabiiti ejja, okusobozesa abazadde okuzza abaana ku massomero.
Kinajjukirwa nti mu kwogera kw’okulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni sabiiti ewedde ku Lwokutaano, yasuubiza okuggyawo Kafyu mu sabiiti 2 ng’abayizi bazze ku massomero, mu kiseera ng’ebivvulu n’ebbaala biguddwawo.
Wabula Minisita w’ebyentambula n’enguudo, munnamaggye Gen. Katumba Wamala, agamba nti Kafyu, ayinza okulemesa abazadde okuzza abaana ku massomero n’okusingira ddala abagenda okutambula engendo empaavu.

Gen. Katumba ng’asinzira ku Media Centre mu Kampala agamba nti sabiiti ejja, Kafyu agiddwawo ku mmotoka zonna ng’abantu baddembe okutambula essaawa yonna, okuwa omukisa abazadde okuzza abaana ku massomero, nga tewali kutaataganyizibwa.
Wadde emmotoka Kafyu agiddwawo, ku bodaboda asigaddewo, okuva ku ssaawa 1 ey’akawungeezi okutuusa 11:30 ez’okumakya.
Gen Katumba mungeri y’emu awanjagidde abazadde okutendeka abaana abaabwe, okwewala okubuuza abantu abakyamu, nga bagenda mu ppaaka ez’enjawulo okulinnya okudda ku massomero.
Minisita Katumba agamba nti buli ppaaka, kuteekeddwako ba gayidi ssaako n’abasirikale, okulambika abaana, abetaaga okuyambibwa n’okutangira ababbi, okunyaga abayizi.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=vWVhDQOULkU