Abantu 9 bafiiridde mu kabenje k’eryato mu ggwanga erya Tanzania ate bangi bakyabuze.
Eryato libadde liva ku kizinga kye Panza okudda e Pemba, werifunidde akabenje nga bagenda kuziika.
Kigambibwa, eryato kubaddeko abantu abasukka 40, emirambo 9 gizuuliddwa, 6 bagiddwayo nga balamu omuli n’abasobodde okuwuga ne batwalibwa mu ddwaaliro okutaasa obulamu.
Omuddumizi wa Poliisi mu bitundu bye Pemba, Richard Thadei Mchomvu agamba nti ekivuddeko akabenje tekimanyiddwa.
Agamba nti okunoonya abantu kukyagenda mu maaso omuli ne ddereeva abadde avuga eryato ssaako n’okutegeera omuwendo gw’abantu abatuufu, ogubadde ku lyato.

Ate Minisita w’ensonga z’ebweru w’eggwanga mu ggwanga erya China Wang Yi mu kiseera kino ali mu ggwanga erya Eritrea ku bugenyi bwe mu Africa, mwagenda okutambulira mu nsi satu (3) omuli Kenya ne Comoros.
Minisita w’amawulire mu ggwanga erya Eritrea Yemane Meskel asobodde okweyambisa omukutu okutegeeza eggwanga nti Wang yayaniriziddwa Minisita we Eritrea ow’ensonga z’ebweru w’eggwanga Osman Saleh n’abakungu abalala ku kisaawe kye Asmara International Airport, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri.
Yemane agamba nti Wang wakumala mu ggwanga ennaku 2, omuli okusisinkana Minisita Osman Saleh ne Pulezidenti Isaias Afwerki.
Wang okuggya mu Africa, kabonero akalaga nti China eyongedde okusimba amakanda mu Africa.