Famire z’abantu abakwattibwa ku by’okulumbagana Minisita w’enguudo n’ebyentambula Gen. Katumba Wamala ne batta muwala we Nantongo Brenda Katumba ssaako ne Ddereeva we Haruna Kayongo, bakyasobeddwa ku bigenda mu maaso mu kkooti.
Akawungeezi ka leero, amasannyalaze obutabaako, galemeseza kkooti okutuula, okuwuliriza okusaba kwabakwate, okweyimirirwa ku misango egibavunaanibwa.
Gen Katumba, yalumbibwa nga 1, Gwomukaaga, 2021 abatemu abaali ku Pikipiki, era abakwate bakulungudde ku limanda emyezi mukaaga (6).
Wadde oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Babrah Kyomugisha lwakomekereza okunoonyereza, bakyalemeddwa okuleeta ebiwandiiko, okuteekeddwa omukono gwa Ssaabawaabi wa Gavumenti Jane Frances Abodo, okusindika abakwate mu kkooti enkulu.
Olunnaku olw’eggulo, Kyomugisha yaleese ebiwandiiko ng’emisango, gikyusiddwa, Gen. Katumba Wamala, eyasimatuka okuttibwa ng’agiddwa misango ekyavuddeko, bannamateeka babasibe nga bakulembeddwamu Geofrey Tulyamusiima, okukiwakanya.

Mu kkooti, munnamateeka Tulyamusiima akulembeddemu okusaba eky’okuyimbula abasibe, olwa Gavumenti okulemwa okubasindika mu kkooti enkulu, okwewozaako, kyokka amasannyalaze tegabadeeko, okuwuliriza okusaba kwabwe.
Omulamuzi Posiano Odwori abalagidde okudda mu kkooti, sabiiti ejja ku Lwokuna nga 20, omwezi guno ogwa Janwali.
Abakwate bali munaana (8) nga bali ku misango 24 omuli egy’obutemu era bali ku Limanda mu kkomera e Luzira ne Kigo.
Ate minisita omubeezi alondoola eby’enfuna by’eggwanga Peter Ogwang, alabudde nti bajjeti y’eggwanga okuyita, muteekeddwa okuteekebwamu ssente, ezisasaanyizibwa mu kutambuza omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ebweru w’eggwanga.
Minisita Ogwang, bw’abadde mu kakiiko ka Palamenti akalondoola ensonga z’obwa Pulezidenti, ng’akiikiridde, Minisita w’ensonga z’obwa Pulezidenti Milly Babirye Babalanda, agambye nti wadde Minisitule y’ebyensimbi, egezaako, okunyigiriza okukendeza ku Bajjeti y’eggwanga, ssente ezitambuza omukulembeze w’eggwanga mu nsi z’ebweru, ziteekeddwa okuteekebwa mu bajjeti y’eggwanga.

Minisita Ogwang agamba nti omukulembeze w’eggwanga, abaako n’ensonga enkulu ezimutwala ku lw’obulungi bw’eggwanga, era buli lwatambula, asasaanya ssente ez’enjawulo okusinzira ku lugendo, abantu batambudde nabo, ennaku zagenda okumalayo ssaako n’ensonga endala.
Wadde Minisita Ogwang, alemeddeko ku ssente ezitambuza omukulembeze w’eggwanga, abakakiiko nga bakulembeddwamu ssentebe era omubaka we Adjuman Jessica Ababiku, balagidde Minisita okudda mu kakiiko kaabwe n’omuwendo gwa ssente omutuufu ogwetaagisa okutambuza omukulembeze mu nsi z’ebweru.
Okusinzira ku offiisi y’omukulembeze w’eggwanga, betaaga obuwumbi obusukka 400 mu bajeti y’omwaka 2022 – 2023, gye bali mu kutekateeka mu kiseera kino.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=fvbgK-Bd6jM