Entiisa ebuutikidde abatuuze mu disitulikiti y’e Mukono, omwana eyabula sabiiti ewedde ku Lwokusatu, bw’azuuliddwa nga yattibwa.
Omwana Praise Lugoloobi Nakavubu myaka 6, abadde yakatandika okusoma ku Katente Church of Uganda primary school era ku ssomero, yasomawo ennaku 3 zokka.
Omulambo gusangiddwa mu kibira mu ggoombolola y’e Nakisunga.
Mu kwekebejja omulambo, gusangiddwa nga guli mu yunifoomu, nga baamusala obulago ssaako n’ekiwundu ku mutwe nga n’ekivundu kitandiise okusanikira ekitundu.
Wadde omulambo gw’omwana gutwaliddwa Poliisi, abatuuze balemeddeko nga bagamba nti omwana yasaddakiddwa ne batwala ebitundu by’ekyama ssaako n’olulimi.
Abatuuze ku kyalo Katente nga bakulembeddwamu Simon Magembe, bagamba nti n’amassabo gasukkiridde ku kitundu kyabwe era tewali kubusabuusa kwonna, omwana yasaddakiddwa.
Ate nnyina w’omwana kati omugenzi Nawume Namata agamba nti omwana we okubula, yatwala omusango ku Poliisi y’e Nakisunga era okuva sabiiti ewedde, banoonyeza okutuusa lw’azuuliddwa nga yattiddwa.
Maama Namata wakati mu kulukusa amaziga, awanjagidde Poliisi okunoonyereza okuzuula abenyigidde mu kutta mutabani we.
Ate akulira okunoonyerez ku misango ku Poliisi y’e Mukono, Joseph Zziwa agamba nti ebiriwo biraga nti omwana yasaddakiddwa era bakyalinze alipoota y’eddwaaliro okuva mu ddwaaliro ekkulu e Mulago.
Zziwa, mungeri y’emu awanjagidde abatuuze okuyambagana mu kiseera kino ng’abawa Poliisi amawulire, agayinza okubayamba okubatuusa ku batemu.
Wadde Poliisi, egumizza abatuuze ku nsonga y’okunoonyereza, Shafik Mutumbu nga naye mutuuze, asabye enkyukakyuka mu ssemateeka wa Uganda, okangavula obulungi abantu bonna abenyigidde mu kusaddaka abantu.
Ate minisitule y’ebyenjigiriza eweze amasomero gonna okutuuza abayizi abali mu bibiina eby’akamalirizo omuli P7, S4 ne S6 ebigezo eby’okugezesa biyite ‘mock’ kwossa ebyo ebitandika olusoma n’ebyo ebikolebwa wakati mu lusoma.
Minisitule egamba abayizi balina kukola bigezo byakamalirizo byokka nga obudde obwo abasomesa babukozese okusomesa abayizi byebasubiddwa mu budde bw’omuggalo.
Okusinzira ku mwogezi wa Minisitule y’ebyenjigiriza Dr. Denis Mugimba, abasomesa balina okweyambisa ekiseera kino okusomesa abayizi okusinga okutwala ebiseera mu kutekateeka ebigezo bya ‘Mock’.
Mu Uganda, ebigezo bya Mock bibadde bikoleddwa buli Ttaamu ey’okubiri.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=hdJNxD_zK_I