Kyaddaki ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni akoze enkyukakyuka mu bukulembeze obw’enjawulo mu ggwanga.

Okusinzira kw’amyuka omuwandiisi wa Pulezidenti Faruk Kirunda, Pulezidenti alonze Maj. General Geoffrey Katsigazi Tumusiime okumyuka omuddumizi wa Poliisi mu ggwanga, okudda mu bigere by’omugenzi Lt Gen Paul Lokech eyafa mu Gwomunaana, 2021.

Mungeri y’emu Pulezidenti Museveni alonze Private Magambo Tom okuva mu kitongole kya poliisi ekiketta ensonga z’omunda ekya  kya Internal Security Organization (ISO) nga Direkita w’ekitongole ekinoonyereza ku misango mu kitongole kya Poliisi ekya Director Criminal Investigations.

Maj. General Tumusiime

Private Magambo kati ali ku ddaala lya Major era alondeddwa okudda mu bigere bya Assistant Inspector General of Police (AIGP) Grace Akullo.   

Brig. Gen. Isoke Henry naye agudde mu bintu era alondeddwa Pulezidenti Museveni okudda mu bigere bya Col. Edith Nakalema nga ssenkulu w’akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi okuva mu State House.

Col. Nakalema yazzeeyo kusoma era y’emu ku nsonga lwaki Pulezidenti Museveni alonze Brig. Gen. Isoke okuyambako mu kulwanyisa enguzi mu ggwanga.

Kigambibwa obunafu mu kunoonyereza ku misango mu kitongole ekya Poliisi, y’emu ku nsonga lwaki Pulezidenti Museveni akyusizza AIGP Grace Akullo.