Abakise ba Palamenti okuva ku ludda oluvuganya beekandaze ne bafuluma Palamenti y’eggwanga wakati mu kuteesa, nga bawakanya ebikolwa, ebityoboola eddembe ly’obuntu, ebyongedde okusanikira eggwanga lino.

Bano nga bakulembeddwamu omukulembeze waabwe, munnakibiina ki NUP era omubaka we Nyendo Mukungwe e Masaka, Mathias Mpuuga Nsamba, bagamba nti bakooye ebitongole ebikuuma ddembe, okwenyigira mu kutulugunya abantu abakwattiddwa kyokka abenyigidde mu kutulugunya abakwate, basigala balya butaala.

Ensonga endala, mwe muli okulwawo okutwala abantu mu kkooti abakwattiddwa ate abatwaliddwayo, ensonga zikolebwa mu ngeri ya kivanduro.

Mps ku Palamenti

Oluvudde mu Palamenti mu kisenge ekiteesebwamu, batuukidde ku mbalaza za Palamenti ne bayimba ennyimba ez’enjawulo omuli Twagala mirembe, Muyimbule abantu baffe, Tukooye efugga bi, era kwaaya ebadde ekulembeddwamu omubaka wa Monisipaali y’e Mityana Francis Zaake, Omubaka wa Munisipaali y’e Bugiri Asuman Basalirwa, Omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Wakiso Betty Esther Naluyima, omubaka we Kyadondo East Muwada Nkunyingi ssaako n’abalala.

Okuyimba ku Palamenti

Ate ye omukulembeze waabwe Mpuuga, agambye nti si bakudda mu kisenge ekiteesebwamu okumala wiiki 2 okutuusa nga bafunye okuddibwamu ku nsonga zaabwe.

Mpuuga alemeddeko nti bakooye, okulaba abantu abali maziga nga bakaaba okweyongera mu ggwanga olw’ebitongole ebikuuma ddembe okubatulugunya ate nga mu kkooti, tewali muntu yenna atwaliddwayo ku nsonga ezo.

Eddoboozi lya Mpuuga

Wadde bekalakasizza ne bafuluma, amyuka sipiika Anita Among, abadde akubiriza Palamenti akawungeezi ka leero, agaanye okuyimiriza Palamenti era basigadde bateesa ku nsonga ez’enjawulo omuli ensolo z’omu nsiko okulya emmere y’abatuuze okumpi n’amakuumiro gaazo.

Sipiika Among mu Palamenti

Sipiika Among, agamba nti kiswaza ab’oludda oluvuganya okwekandaga ne bafuluma oluvanyuma lw’okusaba Attorney General, okuleeta alipoota ku nsonga enkulu ezinokoddwayo ez’okutulugunya abantu.

Sipiika agamba nti bwe kiba nga waliwo abantu abakyabuze, ye ssaawa Gavumenti okuvaayo, okutegeeza famire z’abantu abo, wa abantu baabwe gye bali.

Mu kusooka nga tebanafuluma, Mpuuga ng’ali mu kisenge ekiteesebwamu, agambye nti bakooye okuteesa ku nsonga enkulu mu ggwanga, nga bannayuganda battibwa, okubuzibwawo n’okutulugunyizibwa.

Agamba nti ensonga ezo, zibadde mu Palamenti emyaka egigenda mwebiri naye nga tewali nkyukakyuka yonna.

Mpuuga ne Sipiika

Guno gwe mulundi Ogwokubiri nga bekalakaasa ne bafuluma ng’omulundi ogwasooka, gwaliwo omwaka oguwedde nga 28, September, 2021, nga bawakanya eky’ebitongole ebikuuma ddembe, okuddamu ne bakwata Muhammad Ssegirinya omubaka we Kawempe North ne Allan Ssewanyana owe Makindye West ku misango gye kitta bantu ekyali Masaka, wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana, 2021, omwafiira abasukka 20.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=os9VIK5TdOA

Bya Zainab Ali ku Palamenti