Poliisi mu bitundu bye North Kyoga ekoze ekikwekweeto ku babbi ba Pikipiki abaludde nga batigomya abatuuze mu disitulikiti y’e Lira.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, ababbi baludde nga batigomya abatuuze mu ggwanga lyonna nga balina ba Agenti.

Enanga agamba nti okunoonyereza kulaga nti Pikipiki ezibiddwa, zitundibwa mu mawanga okuli South Sudan, DRC ne Kenya.

Poliisi yakutte Okori Mondri myaka 28 ng’avuga bodaboda ku kyalo Adagayala cell, Abedi ward mu disitulikiti y’e Apac.

Mondri Poliisi yamukwatidde ku kyalo Inomo mu disitulikiti y’e Kwania ng’ali ne Pikipiki egambibwa okuba enzibe ekika kya Bajaj Boxer namba UEU 54f8Q nga myufu. Poliisi yamukutte yakava mu disitulikiti y’e Soroti.

Mondri yasobodde okuyamba Poliisi okukwata abantu abalala 10 n’okuzuula Pikipiki endala 5 ezigambibwa okuba enzibe ate Pikipiki endala 5 zagiddwa okuva mu bantu baabwe mu disitulikiti y’e Kwania ne Apac.

Abakwate kuliko Okori Modri, Okello Dan myaka 30 nga mutuuze we Paar Opok cell mu Tawuni Kanso y’e Apac, Olwa Benson myaka 32 ng’avuga bodaboda ku kyalo Abor mu disitulikiti y’e Apac ne Opolo Dan myaka 22 nga naye avuga bodaboda ku kyalo Ongica mu ggoombolola y’e Inomo mu disitulikiti y’e Kwania.

Poliisi eri mu kunoonya abantu abalala ababiri (2) okuli Okior, Denis nga bonna babbi mu bitundu bye North Kyoga ku kyalo Apcar mu disitulikiti y’e Apcar ne Akaki Sam, komanda w’ababbi mu bitundu bye East Kyoga, Sipi ne Elgon.

Pikipiki ezazuuliddwa kuliko

1.     UEZ 253U, Baja  Boxer, myufu

2.     UEU 355U Bajaj Boxer

3.     UEU 484Q Bajaj Boxer

4.     UEE 337H Bajaj Boxer myufu

5.     UEO 103Y Bajan Boxer

6.     UEE 936K Bajaj Boxer

7.     UEW 918H Bajaj Boxer

8.     KMFJ – 433 Bajaj Boxer myufu

9.     UEK 300S Bajaj Boxer, myufu

10.    UFJ 610 Bajaj Boxer

Poliisi era ezudde Number Plates za Pikipiki okuli

1.     UEW 293D

2.     UER 258Y

3.     UEP 293V

4.     UFD 715N

5.     UEE 895D

6.     UEU 978D

Bya Nalule Aminah