Kyaddaki Gavumenti efulumiza ekiwandiiko ku by’okutulugunya abantu abazze bakwatibwa ssaako n’abo, abagambibwa nti babuzibwawo ebitongole ebikuuma ddembe.
Okusinzira ku kiwandiiko ekisomeddwa Minisita w’ensonga z’abakozi era akola nga Minisita w’ensonga za sseemateeka, Muruli Mukasa, Gavumenti esambaze ebiyitingana nti erina omukono, ku bantu abazze batulugunyizibwa.
Mu Palamenti akawungeezi ka leero ebadde ekubirizibwa amyuka sipiika Anita Among, Minisita Muruli Mukasa, naye avumiridde eky’okutulugunya abantu.
Minisita Mukasa mungeri y’emu asambaze ebyogerwa nti Gavumenti eno, esukkiridde okweyambisa okutulugunya abantu abakwattiddwa, okubaggyamu amawulire ssaako n’okubasindikiriza bakkirize emisango.

Mu bigambo bye, Minisita Muruli Mukasa naye ekyebuuza, baani abatulugunya bannayuganda, ekigendererwa kyabwe, ani abatuma, era singa bakwatibwako, tewali kubattira ku liiso.
Mungeri y’emu alabudde abakulembeze ku buli mutendera, okomya okuyingiza ebyobufuzi mu nsonga z’amateeka.
Minisita Mukasa, agamba nti abantu bonna abakwattiddwa, bakkirize bayisibwe mu ngeri y’amateeka, okusinga okuteekawo embeera ey’okulemesa enkola ey’amateeka.
Agamba nti, tewali muntu yenna ali waggulu w’amateeka wadde abakulembeze.
Ate ku nsonga y’abantu abagambibwa, nti babuzibwawo ebitongole ebikuuma ddembe, Minisita Muruli Mukasa agambye nti okunoonyereza, ku bantu abo, kukyagenda mu maaso.
Ate ku nsonga ya Muhammad Ssegirinya omubaka we Kawempe North ne Allan Ssewanyana owe Makindye West, abali ku limanda mu kkomera e Kigo ku misango gy’ekitta abantu ekyali e Masaka, Minisita Muruli Mukasa, agambye nti okunoonyereza kwakomekerezebwa nga balinze kkooti enkulu e Masaka, okuteekawo ennaku, okuwuliriza emisango gyabwe.
Amangu ddala abakiise ba Palamenti nga bakulembeddwamu, omubaka wa Kampala Central Muhammad Nsereko batabukidde ekitongole ekya Poliisi, okulemberamu akati ku ky’okutulugunya bannayuganda.
Wabula abadde akubiriza Palamenti Anita Among, alagidde Minisita Muruli Mukasa, okweyambisa akakiiko k’eddembe ly’obuntu, okwongera okutangaza ku nsonga ezo.
Asabye Gavumenti okweyambisa akaseera kano, abantu bonna abenyigidde mu kutulugunya abantu, bakwatibwe okusinga okweyambisa ebikolwa ebisiiga Gavumenti enziro n’okutegeera ani abasindikiriza okutulugunya abantu.
Ekiwandiiko, kisomeddwa mu kiseera ng’abakiise ba Palamenti okuva ku ludda oluvuganya tebali mu Palamenti, nga bakyali mu kwekalakaasa kwabwe.
Bano nga bakulembeddwamu omukulembeze waabwe Mathius Mpuuga Nsamba, bali mu kwekalakaasa okumala sabiiti 2 nga tebalinya mu kiseenge kya Palamenti ekiteesebwamu olw’ensonga za Bannayuganda abazze batulugunyizibwa n’okubuzibwawo okweyongera.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=rmhWCHXrAv8&t=8s