Poliisi ebadde mu kulawuna ekiro ku ssaawa 9, esangiriza ababbi, nga bakamala okumenya edduuka e Bunga ku luguudo oluva e Kampala okudda e Ggaba.
Ababbi, amangu ddala nga bawulidde Poliisi, baagadde okudduka wabula batidde okubakwata ne badduka, emmotoka yabwe ekika kya Ipsum UAM 301Q ne bagirekawo.

Poliisi mu kwekebejja emmotoka, musangiddwamu ebibbe omuli sukaali, engano, butto, ebaafu ssaako n’ebintu ebirala.
ASP Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agamba nti mu mmotoka, musangiddwamu n’ebyuma, ebyeyambisibwa mu kumenya enzigi era Poliisi y’e Bunga etandiise okunoonyereza.

Owoyesigyire era agamba nti Poliisi egenda kweyambisa ekitongole ekisolooza emisolo mu ggwanga [URA] okuzuula ebikwata ku mmotoka, okuyambako mu kunoonyereza kwabwe n’okuzuula ababbi, abaliira ku nsiko mu kiseera kino.
Ate essanyu libuutikidde abatuuze ku kyalo Nakabiito mu ggoombolola y’e Ziroobwe mu disitulikiti y’e Luweero, oluvanyuma lw’okutta omu ku basajja abaludde nga benyigira mu kubba ente.
Geoffrey Muswedde, myaka 28 akubiddwa abatuuze okutuusa lw’afudde enkya ya leero.
Okusinzira ku Erinest Ssekiziyivu, ssentebe w’ekyalo Nakabiito, ababbi baludde nga benyigira mu kubba ente z’abatuuze nga ne sabiiti ewedde omutuuze Ssali Alemanzani, ababbi batwala ente ze bbiri (2).
Abatuuze, bagamba nti ente eziri 20 zibiddwa mu bbanga lya myezi esatu (3) nga mutuuze munaabwe Geoffrey Muswedde attiddwa, yabadde akulemberamu okupaanga olukwe mu bitundu byabwe.
Ate Kansala we Nakigoza, Paul Ssenabulya agamba nti abatuuze baludde nga bakaaba olwa babbi okubba ente zaabwe nga n’ezimu, zisalibwa ne balekawo ebyenda.
Ssenabulya bw’abadde awayamu naffe ku lukomo lw’essimu, alambuludde engeri Muswedde gyatiddwamu nga buli mutuuze amukubye buli kyabadde akutte omuli emiggo, ekirese abatuuze nga bafunye ku ssanyu.
Ate omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, (Savannah) Isah Ssemwogerere, avumiridde eky’abatuuze okutwalira amateeka mu ngalo.
Agamba okunoonyereza okuzuula abatuuze abatwalidde amateeka mu ngalo kutandikiddewo kuba kimenya amateeka.
Ssemwogerere agamba nti okutta omuntu kiremesa Poliisi okunoonyereza okuzuula ekituufu oba bayinza okutta omuntu nga talina musango gwonna.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=rmhWCHXrAv8&t=8s