Omuyimbi Innocent Asiimwe abadde amanyikiddwa nga Napoleon afudde.
Napoleon ye muyimbi eyakuyimbira oluyimba lwa More Money.
Asangiddwa ng’afiiridde mu nju ya muganda we mu Kampala.
Kigambibwa mu kiseera wafiiridde, mu nnyumba asangiddwamu ng’ali yekka.
Entekateeka ziraga nti Napoleon agenda kuziikibwa mu disitulikiti y’e Mbarara.
Kigambibwa olw’embeera, Napoleon yatandika okunywa ebiragalaragala n’ebitamiiza ssaako n’omwenge, ekyavaako okufuna endwadde ez’enjawulo omuli ekibuumba saako ensigo okulwala.
Mu Gwokutaano, 2018, yatwalibwa mu ddwaaliro e Butabika nga tali mu mbeera nungi kuba yali yatandika dda okunywa ebiragalaragala.