Bakansala mwenda (9) ab’ekitongole ki Kampala Capital City Authority (KCCA), baziddwa ku limanda mu kkomera e Kitalya, okutuusa ku lunnaku lw’abaagalana olwa Valentayini nga 14, omwezi guno Ogwokubiri, 2022.
Mu kkooti ku Buganda Road mu maaso g’omulamuzi Sanula Namboozo, ku Bakansala 14, okuli sipiika w’olukiiko lwa KCCA, Zahara Luyirika, Nasuru Masaba, Gadafi Jafari Kamya, Morshin Kakande, Charles Mpindi, Paul Kato, Richard Ssembatya, Moses Katabu, Winnie Nansubuga, Aksam Ssemakula, Morsh Africkan Ssendi amanyikiddwa nga Mr Mosh, Fausta Bitaano, Faisal Kibirige Ssebayiga ne Rose Kigozi, bakansala abasajja 9 baziddwa ku limanda, omulamuzi ayimbuddeko bakyala bokka 4 okuva ku limanda mu kkomera e Kigo ne Kansala omusajja omu.
Bakansala abakyala abayimbuddwa nga bakulembeddwamu Zahara Luyirika, Winnie Nansubuga, Fausta Bitaano ne Rose Kigozi, basabiddwa ssente emitwalo 500,000 ez’obuliwo ne 2,000,000 buli omu ezitali za buliwo ku bantu ababeyimiridde.
Omulamuzi agambye nti Bakansala abakyala, ekisooka bakyala nga betaaga okulabirira abaana baabwe ssaako n’okubudabuda abasajja baabwe, ate kuliko Kansala alina omwana wa myezi 2 gyokka era zezimu ku nsonga lwaki akkiriza okubayimbula.
Ate Kansala omusajja Gaddafi Jafari Kamya ayimbuddwa oluvanyuma lw’okulaga kkooti nti yatulugunyizibwa mu kiseera nga bamukwata.
Oluvudde mu kkooti, munnamateeka waabwe era omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago, agambye nti yabadde asuubirwa Bakansala okuva mu kkomera olunnaku olwaleero, baddemu okutambuza emirimu.
Lukwago agamba nti Bakansala balina emirimu mingi ddala omuli okutekateeka bajeti y’ekibuga, okuteekeratekera abatembeyi ssaako n’ensonga endala.
Munnamateeka Lukwago agamba nti balina essuubi nti ku Mmande, omulamuzi agenda kuyimbula Bakansala bonna.
Bakansala baakwattibwa nga 3, Ogwokubiri, 2022 ku luguudo lwa Allen Road mu Kampala nga bagezaako okulambula enguudo z’omu Kampala zebasuubira okuwa abatembeyi, okuddamu okutambuza emirimu gyabwe okusinga okubasindikiriza okuva mu Kampala.
Omulamuzi agambye nti yetaaga obudde okwekeneenya empapula z’abasibe, ez’okweyimirirwa oluvanyuma ku Mmande awe ensala ye.
Wabula Bakansala 9 oluziddwa ku limanda, abakulembeze abaakedde mu kkooti nga bakulembeddwamu Meeya we Makindye Ali Mulyannyama, balabudde nti tewali kigenda kubaggya ku mulamwa ku nsonga z’okutaasa abantu mu Kampala.