Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ki Uganda National Examinations Board (UNEB)  kifulumiza ennaku, abayizi, zebagenda okukolerako ebigezo bya 2022.

Okusinzira ku Ssaabawandiisi wa UNEB Dan Odong, ebya P7 byakutandika nga 7, November, 2022, S4 okuva nga 4, October, 2022 ate S6 nga 8, November, 2022.

Abaana abagenda okutuula ebigezo byakamalirizo baakutuula wakati w’omwezi gwa October ne December era ng’okwewandiisa kwakutandika ku nkomerero y’omwezi guno ogwa February okutuusa nga 31 May, 2022.

Dan Odong

Odong ng’asinzira ku Media Centre mu Kampala, agamba nti okuwandiisa abayizi ku mulundi guno, ssente zisigadde zezimu.

P7 – 34,000

UCE – 164,000

UACE – 186,000

Mungeri y’emu agambye nti singa omuyizi yenna alwawo okwewandiisa, wakugibwako ssente

P7 – 68,000

UCE – 246,000

UACE – 279,000

Mu ngeri y’emu Odong agambye nti amassomero gonna abayizi kwe balina okutuulira, galina okutimba amannya okumala ennaku 60.

Eddoboozi lya Odong