Maama wa Muhammad Ssegirinya, omubaka we Kawempe North mu Palamenti y’eggwanga, Justine Nakajumba azzeemu okuwanjagira ssentebe wekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni, okuyamba okuyimbula mutabani we.
Maama Nakajumba akedde ku Palamenti nga yegatiddwako mukyala wa Ssegirinya Twahira Akandinda, okuddamu okusaba amyuka sipiika wa Palamenti Anita Among, okuyingira mu nsonga za mutabani we, ayimbulwe.
Wakati mu kulukusa amaziga, asabye ne kabiite w’omukulembeze w’eggwanga lino era Minisita w’ebyenjigiriza Janet Kataaha Museveni, naye okuyingira mu nsonga za Ssegirinya, akulungudde ku limanda ebbanga erisukka myezi 6.
Ku Palamenti, abasirikale basobodde okubakakanya era basobodde okumutwala mu offiisi, eyinza okumuyambako, okumutwala eri sipiika okwanjula ensonga ze.
Ssegirinya ali ku limanda mu kkomera e Kigo ku misango gy’okwenyigira mu kitta bantu ekyali e Masaka wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana, 2021, ekyaleka abasukka 20 nga z’embuyaga ezikunta.
Ssegirinya ali ku misango gy’obutemu, egy’obutujju, okuwagira ebikolwa eby’ekitujju, okugezaako okutta abantu ng’emisango agiriko ne banne okuli Allan Ssewanyana, omubaka we Makindye West mu Palamenti ssaako n’abantu abalala.
Wabula nnyina Nakajumba agamba nti mutabani we, muntu w’abantu, nga tasobola kwenyigira mu kuzza misango egyo nga y’emu ku nsonga lwaki asaba omukulembeze w’eggwanga lino , okusonyiwa mutabani we.
Ate akulira eby’amawulire ku Palamenti Chris Obore, alabudde maama wa Ssegirinya Nakajumba okwewala abantu abalemeddeko okumuggya ku mulamwa nti Palamenti esobola okuyamba okuyimbula mutabani we.
Obore agamba nti Palamenti kyesobola okuyamba, kwe kusaba emisango okuwulirizibwa mu bwangu bwa si kuyimbula Ssegirinya nga eky’okuggya ku Palamenti, kiyinza obutayamba kutaasa mutabani we kkomera.