Poliisi ya Kampala mukadde etandiise okunoonyereza ku kivuddeko omuliro ogusse omu ku bayizi ku ssomero lya Good Times infant Primary School e Kawaala mu divizoni y’e Rubaga mu Kampala.

Good Times infant Primary School Kawaala

Okunoonyereza kulaga nti omuliro gutandiise ku ssaawa nga 6 ez’ekiro, ekikeseza olwaleero, ekisulo, omusula abayizi ba P.4, P.5, P.6, ne P.7 ekimanyiddwa nga OLUPOT ” B” BLOCK.

Omuliro ku ssomero

Wadde abayizi, basobodde okweyambisa emiryango okudduka, omu ku bayizi Amanya Mathew myaka 11, abadde mu kibiina eky’omukaaga (P.6), abadde yakedde okwebaka, omuliro gumusse, ekirese abayizi n’abazadde nga bali mu kiyongobero.

Omuloodi Ssalongo Erias Lukwago ku ssomero

Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agambye nti omulambo gw’omwana guzuuliddwa nga yenna kizibu nnyo okumutegeera era gusindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa.

Mungeri y’emu agambye nti Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula ekivuddeko omuliro.

Bya Nalule Aminah