Ssemaka attiddwa
Abaana bekobaanye ne nnyabwe ne batta kitaawe ng’entabwe evudde ku ssimu.
Banno okuli omukyala Fledian Busingye myaka 50 n’abaana be Paul Nuwagaba myaka 22 ne Jimmy Mwebaze myaka 23 nga bonna batuuze ku kyalo Kayenje cell mu ggoombolola y’e Bufunda mu disitulikiti y’e Ibanda, bonna bakwattiddwa mu kiseera kino.
Okusinzira kw’addumira Poliisi mu disitulikiti y’e Ibanda Philbert Waibi, abasatu (3) abali ku misango gy’okutta Peter Mwebaze ali mu gy’obukulu 60 mu kiro, ekikeseza olwaleero.
Okunoonyereza, kulaga nti ssemaka Mwebaze yasabye mukyala we ku ssimu, omukyala nagaana, ekyavuddeko okulwanagana.
Abaana bavuddeyo okutaasa nnyabwe era Ssemaka yakubiddwa nga n’omukyala mu kwetaasa, yakutte ejjambiya, okutematema bba.
Wabula abatuuze ku kyalo bagamba nti Busingye ne bba, baludde nga balina obutakaanya, ng’omusajja alumiriza mukyala we obwenzi nga n’ensonga z’omu kisenge, yazivaako dda.
Omu ku batuuze agaanye okwatuukiriza amannya ge, agambye nti sabiiti ewedde Mwebaze kati omugenzi yabadde asabye Poliisi okuyamba okuyingira mu nsonga ze.
Yo Poliisi egamba nti omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro okwekebejjebwa ng’omukyala akwattiddwa ne batabani be ku misango gy’okutta omuntu.
Ate Poliisi ekutte omusirikale munaabwe ku misango gy’okufuna amaddu, nasobya ku mwana omuto ali mu gy’obukulu 16.
Detective Inspector of police Habineza Vianny yakwattiddwa.
Omusirikale Habineza yasobya ku mwana omukozi w’awaka, era yazuuliddwa nga yafunye olubuto.
Omwana yasobezebwako mu February, 2021, kyokka yakizuula nti yafunye olubuto mu April, 2021, yatwalibwa mu ddwaaliro okuzaala mu September 2021 era amangu ddala omusirikale yadduka.
Habineza nga musirikale ku nsalo e Bunagana, yafuna omukozi mu January 2020 era yali asula naye ku kyalo Rutare mu ggoombolola y’e Chahi mu disitulikiti y’e Kisoro.
Omusirikale Habineza yakwatibwa nga 16, February, 2022 mu bitundu bye Kigezi mu disitulikiti y’e Kabale.
Yatwaliddwa mu kkooti y’omulamuzi e Kisoro Gidudu Fred era yasindikiddwa ku limanda mu kkomera e Kisoro okutuusa nga 22, March, 2022.
Elly Maate, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, agambye nti Habineza ali ku misango gy’okusobya ku mwana omuto.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=guhXia1Euzc