Omuwala amututte ku Poliisi

Pasita akwattiddwa ku misango gy’okusobya ku mukyala mu kkanisa mu kiseera ky’okusaba mu bitundu bye Ogun mu ggwanga erya Nigeria.

Pasita Mathew Oladapo owa Life and Power Bible Church yakwattiddwa.

Oladapo yasobeza ku muwala myaka 19 (amannya gasirikiddwa) mu kiseera ky’okusinza.

Ku Poliisi, omuwala agamba nti bwe yabadde mu kusaba ku Ssande, nga 20, omwezi guno Ogwokubiri, 2022, Pasita Oladapo yawadde obunabi nti alaba omusajja omugagga, ng’alabika bulungi ddala, ng’ali mu laavu n’omuwala.

Omuwala agamba nti Pasita yamulagidde okumala ennaku 3 mu kkanisa ez’okusaba ssaako n’okutwala ssente 1,000 olwa naira, ez’okumusiiga amafuta.

Mu sitetimenti ku Poliisi, omuwala agamba nti ku Mmande ekiro, pasita yamulagidde okuyingira akasenge, okumusiiga amafuta.

Pasita yalagidde omuwala okugyamu engoye zonna, kwe kutambuza emikono okumusiiga amafuta.

Wakati mu kulukusa amaziga, omuwala agamba nti engalo za Pasita, zasibidde mu bitundu by’ekyama, oluvanyuma yamulagidde okuteeka omutwe ku mmeza mu ngeri y’okwevunika.

Omuwala era agamba nti yabadde agezaako okulemesa Pasita okumusobyako, wabula yamusuubiza nti singa akuba enduulu oba okumulemesa okwegata, emizimu gigenda kumutawanya okutuusa okufa.

Omuwala agamba nti wakati mu kulumwa, Pasita yamusobezaako okusukka eddakika 20 nga yefuula amusiiga amafuta n’okumugyamu emizimu.

Ku Poliisi, Pasita Oladapo akkiriza eky’okusobya ku muwala kyokka agamba nti omwoyo gw’abadde gusukkiridde nga byonna ebyakoleddwa, gaabadde maanyi ga Katonda.

Pasita asabye okusonyiyibwa ng’aliko abantu abalala ab’okusiiga amafuta n’okusabira wabula Poliisi emuguddeko emisango gy’okusobya ku mukyala era essaawa yonna bamutwala mu kkooti.

Ate omuwala asindikiddwa mu kitongole kya Poliisi ekibudabuda abantu abakoseddwa, okuyambibwa.

Mu nsi yonna, ebikolwa bya sitaani okukema abasumba byeyongedde era bangi bakwattiddwa ku misango egy’enjawulo omuli omubbi, okusobya ku baana, abakyala n’emisango emirala.

Wano mu Uganda, ebikolwa bya basumba okwenyigira mu bwenzi byeyongedde.