Munnamateeka Male Mabirizi wakumala emyezi 18 ng’ali mu kkomera olwa kkooti ejjulirwamu  gy’abadde asuubira esuubi,  okumutaasa ekkomera, okugaana okusaba kwe.

Wiiki ewedde, Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala, Musa Ssekaana yasalidde Mabirizi ekibonerezo kya kusibwa,  emyezi 18 ku misango gy’okuvuma abalamuzi n’okutyoboola ekitongole ekiramuzi ng’ayita ku mikutu migatta bantu.

Enkya ya leero, agiddwa mu kkomera e Kitalya era asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Izama Madrama okuwulira okusaba kwe, ng’awakanya ekibonero ekyamuweebwa.

Izama Madrama mu kkooti

Wabula omulamuzi agobye okusaba kwe nga Mabirizi wakumala emyezi 18 ng’ali mu kkomera, omulamuzi amusonyiye obukadde bwa ssente 300 ezamusabwa mu kiseera nga tennakwatibwa.

Mu kkooti, abadde akiikiriddwa  bannamateeka be Isaac Ssemakadde ne Emma Iduuli kyokka omulamuzi agaanye okusaba kwe.

Bannamateeka mu kkooti

Okusinzira ku musasi waffe Nakaayi Rashidah mu kkooti, Mabirizi olukitegedde nti agenda kumala emyaka 18 mu kkomera, kabuze kata akulukuse amaziga.

Mu Uganda, bangi ku bannamateeka bagamba nti Mabirizi abadde asukkiridde okweyambisa emikutu migatta bantu okulumbagana abalamuzi.

Bannamateeka bagamba nti mu kkooti, omuntu yenna singa atwalayo omusango, ayinza okuwangula oba okuwangulwa.

Bagamba nti kikyamu, munnamateeka Mabirizi okulowooza nti alina okuwangula buli musango gwatutte mu kkooti.

Mu kiseera kino wano mu Uganda, Mabirizi y’omu ku bannamateeka abeegulidde erinnya mu kutwala emisango mu kkooti nga talina muntu yenna gwatya.

Kinnajjukirwa nti mu 2015, munnamateeka Mabirizi yatwala Kabaka Ronald Edward Frederick Kimera Muwenda Mutebi II mu kkooti ng’awakanya engeri ettaka lya Buganda gye likwatibwamu okuyita mu kitongole kya Buganda Land Board mu ngeri y’okuwa abantu kyapa mu ngalo.

Mungeri y’emu atutte Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu kkooti ku misango egy’enjawulo.

Okuva mu 2022, Mabirizi abadde mu kkooti ku misango gye yaloopa Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine.

Mu kusooka yali mu kkooti ku bigambibwa nti Bobi Wine yafuna ekibiina ki NUP mu ngeri emenya amateeka ssaako n’okukyusa obukulembeze.

Agamba nti Bobi Wine okuyingira ku Yunivasite e Makerere okusoma Dipulooma mu kuzina, okuyimba ne Katemba (Music Dance and Drama  – MDD) mu 2001 mu nsoma y’abakulu, kyali kimenya amateeka kuba yali akyali mwana muto.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=TdP5IofQMQs