Kyaddaki amyuka sipiika wa Palamenti Anita Among asisinkanyeko famire ya Muhammad Ssegirinya, omubaka we Kawempe North ssaako Allan Ssewanyana, omubaka we Makindye West.

Ssegirinya ne Ssewanyana, okuva mu September, 2021, bali ku limanda mu kkomera e Kigo ku misango egy’enjawulo omuli egyekuusa ku kitta abantu ekyali e Masaka, wakati w’omwezi Ogwomusanvu N’Ogwomunaana, 2021, omwafiira abasukka 20 nga batemeddwa ebijjambiya.

Bukya basindikibwa ku limanda, famire z’abasibe, zivuddeyo enfunda ez’enjawulo, okusaba sipiika okuyingira mu nsonga zaabwe.

Wabula emisana ga leero, sipiika asisinkanyeko mukyala wa Ssegirinya Twahira Akandinda, maama wa Ssegirinya Justine Nakajumba ssaako ne mukyala wa Ssewanyana, Lydia Ssewanyana.

Nga boogerako ne Bannamawulire

Bonna nga basinzira ku Palamenti, mu offiisi omutakkiriziddwa bannamawulire, agavaayo galaga nti balomboze ennaku gye balimu n’okusoomozebwa kwe bayiseemu bukya basajja bakwattibwa.

Mungeri y’emu basabye amyuka sipiika Among, okuyamba okuyingira mu nsonga za bantu baabwe nga bukya bakwattibwa, embeera eyongedde okubiggya.

Agavudde mu nsisinkano, sipiika abasuubiza nti ensonga zaabwe aziriko era abagumiza okusigala nga bakakamu.

Mukyala wa Ssegirinya nga bamukwasa ebbaasa ya ssente

Agamba nti bo nga Palamenti, baakusaba ekitongole ekiramuzi okwanguyiriza okuwuliriza emisango gyabwe nga balina okuwa ekitiibwa, ekitongole ekiramuzi kuba kyetengeredde.

Wadde batuuse ku Palamenti nga bali mu nyiike, bavuddeyo nga bafunye akamwenyumwenyu ku matama, nga bonna baweereddwa ebbaasi omuli akasente.

Maama wa Ssegirinya nga bamukwasa ebbaasa ya ssente

Buli mukyala afunye obukadde butaano (5) nga ne nnyina wa Ssegirinya, Nakajumba naye afunye obukadde 5, nga zibakwasiddwa omuyambi wa sipiika.

Ate waliwo abazadde abavuddeyo nga basaba Gavumenti eveeyo ku nsonga y’okusomesa abaana, efuuse ekizibu mu ggwanga lyabwe.

Bano bagamba nti amassomero, tegakyafaayo ku muntu wawansi, nga buli ttaamu, balina okwongera ebisale n’okusaba ebyetaaga omuli sukkaali, ssabuuni, enjeyo, ensimbi ez’okuzimba, ekyongedde okubalemesa okusomesa abaana baabwe.

Abazadde bano, bawanjagidde kabiite w’omukulembeze w’eggwanga era Minisita w’ebyenjigiriza Janet Kataaha Museveni, okuvaayo okutaasa eggwanga, okusinga okubalemesa okusomesa abaana n’okutwala Gavumenti mu kkooti, okulagajjala n’obutafaayo okulambika amassomero ku nsonga ya School Fees.

Abazadde basangiddwa mu kkooti enkulu mu Kampala nga basaba okuyambibwa ku nsonga ya School Fees.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=PJ8FX2oypFM