Agava mu ggwanga erya Ukraine, galaga nti amaggye ga Russia, gasobodde okuwamba ekibuga Kherson.

Okusinzira ku mwogezi wa Minisitule y’ebyokwerinda mu ggwanga erya Russia munnamaggye Maj. Gen. Igor Konashenkov.

Russia egamba nti bannansi bali mirembe, ebyentambula biri mu mbeera nungi ddala nga byonna biri wansi w’emikono gyabwe.

Okusinzira ku vidiyo eziri mu kutambula ku mikutu migatta bantu, amaggye ga Russia galabiddwako nga mangi ddala mu kibuga Kherson, emmotoka z’amaggye okulawuna nga n’ezimu zipakingiddwa ebbali, okwekeneenya embeera.

Ekibuga Kherson ekiwambiddwa

Mu kiseera kino, bangi ku bannansi mu kibuga ekyo, bayongedde okudduka nga basuubira emmundu okweyongera okuseka essaawa yonna.

Wabula wadde Russia evuddeyo neyewaana okuwamba ekibuga, Ukraine tennaba kuvaayo okutangaza ku nsonga ezo.

Amaggye ku nguudo

Mu kiseera kino Polanda egamba nti yafuna abantu abasukka 450,000 abadduse okuva mu ggwanga erya Ukraine.

Wabula ekibiina kya mawanga amagate kigamba nti embeera eri mu Ukraine eyongedde okutabangula ebyenfuna, ekigenda okosa eggwanga ne bannansi okumala ebbanga eriwera wadde Russia eyimiriza okulwana kwayo.

Wadde Pulezidenti wa Russia Vladimir Putin myaka 69 alemeddeko okutigomya Ukraine, Pulezidenti wa Ukraine eyali munnakatemba Volodymyr Zelenskyy myaka 44 ayongedde okusaba obuyamba n’okusaba Putin okutuula bateese okusinga okutta bannansi n’okudobonkanya eggwanga.