Omubaka wa Municipaali y’e Mityana Francis Zaake ayingidde mu byafaayo bya Uganda ne Palamenti nga munnayuganda asoose okugobwa ku bwa kaminsona ku kakiiko akatwala palamenti.
Ku lunnaku Olwokuna, wadde abamu ku bakiise ba Palamenti okuva ku ludda oluvuganya nga bakulembeddwamu akulira oludda oluvuganya Mathias Mpuuga Nsamba, beekandaze ne bafuluma Palamenti, amyuka sipiika wa Palamenti Anita Among eyabadde akubiriza Palamenti, yawadde ababaka okulonda ku nsonga ya Zaake, okusalawo ekiddako.
Mu kulonda, ababaka 155 be bakkiriziganyiza ku ky’okuggyamu Zaake obwesige ku bwa Kaminsona.
Mu kalulu akeekyama, ababaka bana (4) bokka be baawakanyizza ekiteeso kino ate ng’obululu bubiri (2) bwe bwafudde.

Nga tebannalonda, omubaka wa Monicipaali y’e Bugweri era ssentebe w’akakiiko akakwasisa empisa, Abdu Katuntu yasomedde Palamenti alipoota yaabwe ku byavudde mu kunoonyereza kwabwe, akakiiko mwe kakizuulidde nti eneeyisa y’omubaka Zaake nti yatyoboola ekitiibwa ky’ amyuka sipiika Among ne Palamenti.
Mu lipoota, yasembye eky’omubaka Zaake okwetondera palamenti n’omumyuka wa sipiika Among ng’ egamba nti Zaake yali asobola okukozesa amakubo agali mu mateeka okulaga obutali bumativu ku ebyo ebyamwogerwaako Among okusinga okweyambisa ebigambo ebityoboola ekitiibwa kya sipiika, abakyala ne Palamenti.
Mu Palamenti, Omubaka omukyala ow’e Butambala Asha Aisha Kabanda Nalule yakulembeddemu okusoma alipoota y’abatono nga bawakanya alipoota ya Katuntu.
Mu lipoota, Aisha Kabanda yategeezezza nti akakiiko kaabwe akakwasisa empisa, kaalemererwa okukola okunoonyereza okumala, okuzuula oba ddala omukutu okwayitwa ebigambo ebigambibwa nti omubaka Francis Zaake yabyogera, mukutu gwa Zaake.
Ebigambo bya Aisha Kabanda tebyalobedde ababaka mu kibiina kya National Resistance Movement (NRM) okuyisa alipoota ey’abangi era ng’ omubaka wa Rukiga County, Roland Ndyomugyenyi yaleese ekiteeso n’asaba alipoota eno eyisibwe nga bongeddemu ekyokuggyamu obwesige omubaka Zaake, ababaka abasinga obungi kye baawagidde.

Wano omubaka wa Fort portal Central Divison, Alex Ruhunda yaleese ekiteeso obuwayiro obumu mu mateeka agafuga palamenti buyimirizibwe okusobola okukubaganya ebirowoozo ku alipoota eno ekyawadde omubaka Ojara Martin Mapenduzi owa Bardege Layibi eyaleeta ekiteeso kino omwaganya okwanjula ekiteeso kye mu Palamenti yonna.
Mapenduzi ebbaluwa esaba kalani wa palamenti abadde yagiwandiika dda ssaako okukungaanya amannya g’abantu abasemba Zaake aggyibweemu obwesige nga byonna yabyanjudde mu palamenti.
Mapenduzi yasembeddwa ababaka okwabadde Jonathan Ebwalu, omubaka w’ekibuga Soroti n’owa Busia municipality Geofrey Macho.
Mu Palamenti, Mpuuga yawakanyizza enteekateeka eyakoleddwa okuggyamu omubaka Zaake obwesige ng’agamba nti amateeka tegagobereddwa bulungi.
Ababaka abamu okwabadde Nathan Nandala Mafabi owa Budadiri West, eyali akulira oludda oluwabula gavumenti, Betty Aol Ochan, baawakanyizza eky’okuggyamu omubaka Zaake obwesige nga bagamba nti yandisonyiddwa kuba tewali atasobya kyokka ababaka abalala kino baakigaanyi.
Ku myaka 31, yayingidde mu byafaayo ng’omubaka wa Palamenti asoose okugobwa ku bwa kaminsona bwa Palamenti nga balina okumuggyako emmotoka, abakuumi, abayambi n’ebintu byonna ebiweebwa kaminsona wa Palamenti.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=Ob5QXm-XxFU