Omuwala ategerekeseeko erya Sarah omuyizi ku yunivasite emu mu Kampala awonye okuttibwa, omukyala bw’amukutte lubona ng’ali mu loogi ne bba basinda mukwano.
Omukyala ategerekeseeko erya maama Najjuma agamba nti baludde nga balina obutakaanya ne bba ategerekeseeko erya Sam.
Maama Najjuma agamba nti okuva mu 2021, Sam abadde yebuzabuza mu nsonga z’omu kisenge era lumu yakwata bba ne mesegi ya laavu mu ssimu ne yetonda.
Wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti abadde ne Sam emyaka egisukka 10 nga balina abaana basatu (3) wabula bba abadde yeyongedde okukyuka.
Agamba nti kiswaza Sam okugenda n’omuwala mu loogi, okuwebuula ekitiibwa kyabwe.
Lwaki akedde kumulondoola!
Maama Najjuma agamba nti akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Ssande, yawulidde bba Sam ng’ali ku ssimu n’omukyala era yamusabye okuddayo mu kifo kyabwe e Kansanga.
Agamba nti enkya ya leero, Sam akedde kuvaayo okugenda ku mulimu wabula asobodde okufuna bodaboda okumulondoola.
Sam akedde ku mulimu kyokka ku ssaawa nga 5 ez’okumakya, avudde ku mulimu, okugenda mu loogi n’omuwala Sarah ali mu myaka 22.
Maama Najjuma agamba nti asobodde okuddamu okulinya bodaboda okumulondoola emmotoka ya bba.
Ku ssaawa 5:30 ez’oku makya, Sam ayingidde mu kifo ekimu okuli Loogi era maama Najjuma asigadde alinze, okulaba omuwala yenna ayinza okuyingira munda.
Wabula ku ssaawa 6, maama Najjuma naye ayingidde ekifo, kwe kubuuza akasenge Sam mwayingidde ng’abadde yefudde mukyala wa Sam.
Omuwala abadde ku kifo awatuukirwa abagenyi, alagidde maama Najjuma okugenda mu kisenge nnamba 20.
Ng’omukyala omulala yenna, asobodde okwanguwa kyokka agenze okuyingira akasenge nga Sam ne Sarah bali mu kaboozi banyumirwa era amangu ddala, okulwanagana kutandikiddewo.
Sam asobodde okutaasa Sarah mu kiseera nga maama Najjuma ali mu maziga.
Sarah asobodde okwanguwa era asobodde okukwata obugoye okudduka ekibambulira.
Amangu ddala asobodde okufuna bodaboda okuva ku loogi ng’omukyala maama Najjuma Sam amukwatidde munda.
Sam ayogedde!
Sam alabudde mukyala we maama Najjuma okukomya okumulondoola kuba yamukoowa dda.
Agamba nti okunoonya omukyala ayinza okumusanyusa si musango era amulabudde okudda awaka, akuume abaana be okusinga okudda mu kulondoola omusajja.
Sam agamba nti wadde mukyala we maama Najjuma abadde amwagala nnyo naye asukkiridde empisa envundu.
Maama Najjuma avuddewo okudda awaka nga yenna ali mu maziga nga ne Sam alaze nti tasobola kwejjusa okutwala omuwala mu loogi era naye avuddewo ng’avuga emmotoka ye.