Poliisi nga yegatiddwako abatuuze ku kyalo Bumwenge mu disitulikiti y’e Busia, baliko omusomesa wa Pulayimale gwe bali mu kunoonya ku misango gy’okusobya ku mwana omuto.
Omusomesa Moses Wejuli yasangiddwa lubona ng’ali mu kwerigomba n’omwana omuto, ali mu gy’obukulu 15 ng’asoma kyamukaaga (P6).
Omusomesa ono, ku ssaawa nga 3 ez’ekiro, taata w’omwana Stephen Wafula yawulidde amaloboozi agava wansi w’omuti gw’omuyembe okumpi n’awaka ng’omuntu ali mukwano, ng’ataddemu ennyimba ezitambuza omuzannyo era yagenze okutuuka nga muwala we, yegabudde, omusomesa empale ye agiwanise waggulu ku muti.
Taata Wafula agamba nti muwala we yabadde mu nnyumba, ng’omusomesa yamuyise buyisi, okumutwala wansi w’omuti.
Mu kiseera kino, omusomesa aliira ku nsiko ng’abatuuze bavuddeyo okuyambagana okumunoonya.
Wabula Milton Ojambo, akulira abasomesa ku Bukalikha primary school, omusomesa Wejuli gy’asomesa, agambye nti naye mu kiseera kino, agenda kuyambako mu kunoonya omusomesa oyo newankubadde mu kiseera kino, amazima tegamanyiddwa.
Abamu ku batuuze, basigadde bewunya omwana omuwala, okuva mu nju ya kitaawe, okumutwala wansi w’omuti, ekiraga nti wadde muto, naye ebikolwa ebyo, ayinza okuba yabitandika dda.
Ate abakulembeze ssaako n’abasomesa mu disitulikiti y’e Nakaseke bakyasobeddwa olw’omuwendo gw’abaana, abakyagaanye okudda ku massomero.
Abasomesa, bagamba nti wadde basemberedde okufundikira ttaamu esooka nga 15, omwezi ogujja Ogwokuna, 2022 bangi ku bayizi mu masomero ga Gavumenti bakyali batono ddala.
Okunoonyereza, kulaga nti abamu ku bayizi baafuna embutto, waliwo abakola emirimu gy’awaka, okwenyigira mu kulima, okuba bulooka, okudda mu kusiika Chapati, nga sibetegefu kuddamu kusoma.
Agamu ku massomero, okuli Kamuli, Luteete, Kibose, Mbuukiro, Butiikwa ne Kiruuli Primary school, abasomesa kabula kata okusomesa entebe enkalu.
Harriet Nakijjoba, amyuka akulira abasomesa ku Luteete Church of Uganda Primary school, ayogeddeko naffe ku mbeera eyo era agamba nti abayizi abasukka mu 100, tebannaddamu kusoma.
Ate Gloria Namuli, nga yamyuka akulira abasomesa ku Kibose Church of Uganda Primary School, agamba nti abaana abasukka mu 300 tebannaba kudda, ekyongedde okubeeraliikiriza.
Kansala we Luteete mu ggoombolola y’e Kikamulo Frank Muhoozi, agamba nti abaana okunoonya ssente ku myaka emito n’okuzannya zzaala, kyongedde okubalemesa okudda ku massomero.
Ate ssentebe wa LC ey’okutaano mu disitulikiti y’e Nakaseke Ignatius Koomu awanjagidde abazadde okuyamba abaana okudda ku massomero, okusinga okulinda okubakangavula.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=vTU2BGUoVnI