Kyaddaki Gavumenti evuddeyo ku bigambibwa nti sipiika wa Palamenti Jacob Oulanyah yafudde butwa.

Olunnaku olw’eggulo ku Mmande, ababaka ba Palamenti abasibuka mu bitundu bya Acholi bakangudde ku ddoboozi, nga betaaga alipoota, okutegeera obulungi, ku kyavuddeko omwana waabwe okufa.

Sipiika Jacob Oulanyah kati omugenzi, wafiiridde abadde mubaka wa Palamenti mu Konsituwense y’e Omoro mu disitulikiti y’e Omoro mu bitundu bya Acholi, mambuka ga Uganda.

Yafiiridde ku myaka 56 mu ggwanga erya America era Bannayuganda bakyalinze entekateeka z’okuzza omulambo gwe ssaako n’okuziikibwa.

Wabula, abakiise ba Palamenti abasibuka mu bitundu bya Acholi nga bakulembeddwamu omubaka we Kilak South, Gilbert Olanya bagamba nti sibetegefu kuziika Jacob Oulanyah okutuusa nga bategedde ekyamusse.

Gilbert Olanya agamba nti Jacob Oulanyah yafudde, kyawedde nga balina okulinda okunoonyereza okutuusa nga bategedde ekituufu ekyasse omuntu waabwe nga bakooye abantu baabwe okufa nga bali mu offiisi.

Gilbert Olanya ng’asinzira ku Palamenti, agamba nti bakooye abantu okufa mu kitundu kyabwe nga bakatuufu mu bukulembeze obwesiimisa.

Anokoddeyo alipoota z’abasawo okuli eyafulumizibwa ku bya  Lt Gen Paul Lokech, eyali amyuka omuddumizi wa Poliisi mu ggwanga, eyategeeza nti yafa nga kivudde ku musaayi okwetugga nti byonna bikyatankanibwa.

Wabula minisita w’ebyamawulire n’okulungamya eggwanga mu Gavumenti ya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni, Dr. Chris Baryomunsi awakanyiza ebigambo ebiri mu kutambuzibwa okuva mu bantu ab’enjawulo nti sipiika Oulanyah yafudde butwa.

Dr. Baryomunsi agamba nti Sipiika Oulanyah abadde mulwadde okumala ebbanga ddene era okufa kwe kyavudde ku bulwadde bwe.

Asabye bannayuganda okulinda alipoota y’abasawo naye ebyogerwa nti Sipiika Oulanyah yafudde butwa, kyabulimba.

Agamba nti Sipiika Oulanyah abadde alina abasawo, abaludde nga bamujanjaba era bannayuganda bonna balina okumanya ekituufu ekyavuddeko sipiika waabwe okufa.

Mu byafaayo bya Uganda, Oulanyah ye sipiika wa Palamenti asoose okufiira mu ntebe era ye sipiika asoose okuwereza Palamenti akaseera akatono.

Nga 24, May, 2021, Jacob Oulanyah yalondebwa ku bwa sipiika bwa Palamenti y’e 11. Mu kulonda okwali mu kisaawe e Kololo, yafuna obululu 310, Rebecca Kadaga yafuna obululu 197 ate omubaka wa Monicipaali y’e Kira Ibrahim Ssemujju Nganda owa Forum for Democratic Change (FDC) yafuna 15.

Oulanyah yalondebwa okudda mu bigere bya Kadaga.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=Dgmc3-TWWP4