Amyuka sipiika wa Palamenti Anita Annet Among, amaze okwewandiisa mu kakiiko k’ebyokulonda mu kibiina ki National Resistance Movement (NRM), okuvuganya ku bwa sipiika bwa Palamenti.

Among nga yabadde amyuka sipiika wa Palamenti kati omugenzi Jacob Oulanyah, asobodde okusindika omuyambi we omu ku bakyala,ku ssaawa 5 ez’okumakya era yasoose okwewandiisa.

Omuyambi wa sipiika Among mu maaso ga Dr. Tanga Odio

Amangu ddala, ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina ki NRM Dr Tanga Odoi, akkiriza okusaba kwe, ku ky’okuvuganya ku bwa sipiika.

Okusinzira ku ntekateeka ezafulumiziddwa, Palamenti yakulonda sipiika ku lunnaku Olwokutaano nga 25, omwezi guno Ogwokusatu, 2022, oluvanyuma bannansi bakubategeeza entekateeka z’okuziika Oulanya, eyafiiridde mu ggwanga erya America ku lunnaku olwa Ssande.

Ate nga zikunukiriza okuwera essaawa 6, amyuka ssaabawolereza wa gavumenti Jackson Kafuuzi naye asobodde okwewandiisa okuvuganya ku bwa sipiika okudda mu bigere bya Jacob Oulanyah.
Kafuuzi, omubaka we Kyaka South mu disitulikiti y’e Kyegegwa agamba nti ye ng’omusajja munnamateeka, alina obusoobozi okudda mu bigere bya Oulanyah.

Nga zigenda mu ssaawa 7, omubaka wa Palamenti owa Arua Central Atima Jackson naye avuddeyo okwewandiisa okuvuganya ku bwa sipiika bwa Palamenti.
Ate ku 7:30 ez’emisana, omubaka omukyala we Tororo, Sarah Opendi, awezezza omuwendo gw’abantu 4 abegwanyiza entebe ya sipiika.

Lindirira ebirala ku nsonga za sipiika…………….