Kkooti mu ggwanga erya Kenya eriko omusajja gw’etanzizza ddoola 600 olw’okumenya amateeka g’ekkubo n’okusiwuuka empisa.

Mu katambi akali mu kusasaana ku mikutu migatta bantu omuli Face Book, WhatsApp n’emirala,  omusajja ategerekesenga James Maina Kibe yabadde mu mmotoka ekika kya Toyota Probox namba KBJ 835Z era yabadde avuga ng’amunda mulimu omukyala asaba obuyambi.

Omukyala yabadde mu miranga ng’oluggi lw’emmotoka luggule, ekyalese abantu nga bali mu kutya n’okusaba Poliisi okuyamba.

Amangu ddala omuddumizi wa Poliisi y’e Kasarani Peter Mwanzo, yakakasizza nti emmotoka ekwattiddwa.

Mu mmotoka, omukyala, yabadde agamba nti, “si leero, bambi nsonyiwa, tukikola enkya’, wabula omusajja Kibe nga tafaayo.

Mu kkooti, Omusajja agamba nti omukyala muganzi we, kyokka yabadde amututte awutu ne balya ssaako n’okunywa kyokka bwe yabadde amutwala okusinda omukwano, omukyala ne yekyanga.

Omusajja agamba nti omukyala oluvanyuma lw’okulya ssente ze, yabadde alina okumutwala, okwesa empiki kyokka baalemeddwa okukaanya nga y’emu ku nsonga lwaki, omukyala yabadde alemeddeko ng’ayagala omusajja okuvuga okumutwala awaka wabula si kumutwala kusinda mukwano mu loogi.

Nga bali mu kkooti, basabye omulamuzi okubasonyiwa, era omusajja atanziddwa ddoola 600 ssaako n’okumuggyako layisinsi, emukkiriza okuvuga ekidduka.

Mu kkooti, omusajja aguddwako emisango gy’obulagajjavu n’okulumya omukyala gw’agamba nti muganzi we.