Omwana eyasobezebwako, awanjagidde ssentebbe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni, okuyingira mu nsonga ze, ssentebe eyamusobyako, okuddamu okumukwata.
Omwana amannya gasirikiddwa ali mu gy’obukulu 15, nga mutuuze ku kyalo Nyamiringa e Bulongo mu disitulikiti y’e Sembababule, agamba nti ssentebe w’ekyalo Nyamiringa George Musheijja Bakulu, yamukwata sabiiti ewedde ku Lwokusatu.
Omwana ng’ali mu kibiina kya musanvu (P7) wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti ssentebe Bakulu, yamutwala mu kasenge, kw’emu ku bbaala eziri ku kyalo, namusobyako.
Amangu ddala, ssentebe yadduka okusimatuka abatuuze okuttibwa kyokka oluvanyuma yaddukira ku Poliisi y’e Ntuusi, okusobola okutaasa obulamu.
Olw’abatuuze okwekalakaasa nga basaba ssentebe okumutta, akulira Poliisi y’e Ntuusi Charles Mondo, yaggyawo ssentebe, namutwala ku kitebe kya Poliisi e Sembabule.
Agamba nti Ssentebe Bakulu yayimbuddwa nga yakomyewo ku kyalo, kwe kusaba Pulezidenti Yoweri Museveni, okuyingira mu nsonga ze.
Maama w’omwana Fortunate Birungi agamba nti ekitebe kya Poliisi e Masaka kyavuddeyo okuyingira mu nsonga ze era nga baabadde balinda ssentebe Bakulu okumutwala mu kkooti.
Maama agamba nti atambulira mu kutya olwa ssentebe okudda ku kyalo nga n’omwana we eyasobezeddwako, tannafuna bwenkanya.
Mungeri y’emu agambye nti ssentebe Bakulu yamukwata lubona ng’ali ku mwana we amusobyako, oluvanyuma lw’omwana okukuba emiranga ng’asaba obuyambi.
Ate bo abatuuze nga bakulembeddwamu Juma Ssemakula agamba nti ekikolwa ekyakoleddwa Poliisi, kabonero akalaga nti omunaku wakufa.
Ssemakula awanjagidde buli mukulembeze okuyamba, okutuusa nga ssentebe Bakulu bazzeemu okumukwata ku misango gy’okusobya ku mwana omuto.
Mungeri y’emu agambye nti abasirikale okwenyigira mu kulya enguzi, kiteeberezebwa y’emu ku nsonga lwaki ssentebe Bakulu yayimbuddwa.
Wabula 100.2 Galaxy FM bw’ebadde ewayamu n’omwogezi wa Poliisi mu bendobendo lye Masaka Muhammad Nsubuga, agambye nti ssentebe Bakulu yayimbuddwa kakalu ka Poliisi naye okunoonyereza ku kyagenda mu maaso.
Nsubuga agamba nti singa okunoonyereza kulaga nti omwana yasobezeddwako, tewali kubusabuusa kwonna, ssentebe Bakulu balina okumutwala mu kkooti, kwe kusaba abatuuze, okusigala nga bakakamu.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=Bc-yubsZZ6k