Kyaddaki Minisita w’ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng awadde ezimu ku nsonga lwaki avudde mu lwokaano, lw’okulemberamu ekibiina ki National Resistance Movement (NRM), okuvuganya ku bwa sipiika bwa Palamenti.

Olunnaku olw’eggulo, ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina ki NRM Dr. Tanga Odoi yafunye abantu 13, abegwanyiza okudda mu bigere bya Jacob Oulanyah eyafiiridde mu ggwanga erya America, ku kya sipiika wa Palamenti y’e 11.

Mu 13, abasajja kwabadde 9 ng’abakyala kuliko 4.

Bano kuliko amyuka sipiika wa Palamenti Anita Among, Minisita w’ebyobulamu Dr. Ruth Jane Aceng, Minisita omubeezi ow’ebyemizannyo Hamson Obua, amyuka ssaabawolereza wa gavumenti Jackson Kafuuzi, Minisita omubeezi ow’ebyokwerinda Jacob Oboth Oboth, Atima Jackson okuva mu Arua, Sarah Achieng Opendi okuva e Tororo, Felix Okot Ogong okuva mu Dokolo.

Abalala kuliko Ssekikubo Theodore okuva e  Ssembabule,  Oboth Markson Jacob okuva mu Tororo, Kintu Alex Brandon okuva e Jinja, Asiimwe Florence Akiiki okuva e Masindi, Okot John Amos okuva e Agago ne Wakabi Pius okuva mu bitundu bye Hoima.

Wabula Minisita Aceng agamba nti wadde ddembe lye okwesimbawo, teyafunye kadde kamala okwebuuza ku bakulembeze mu kibiina, mikwano gye ssaako ne famire ye, era y’emu ku nsonga lwaki avudde mu lwokaano.

Ng’asinzira ku mukutu ogwa ‘Twitter’, asuubiza okweyambisa offiisi ye nga Minisita w’ebyobulamu okwongera okuwereza obulungi bannayuganda. “I’ve taken a decision to withdraw my intention to stand for the Position of Speaker of @Parliament_Ug. I have not had enough time to consult my party leadership, colleagues and family. I pledge to continue serving diligently in my current capacity as Minister for Health”.

Ekiwandiiko kya Aceng

Olunnaku olwaleero, akakiiko ka NRM ak’oku ntikko aka Central Executive Committee (CEC) kali mu kwekeneenya amannya g’abantu abo.

Olunnaku olw’enkya ku Lwokuna nga 24, omwezi guno Ogwokusatu, aba kabondo ka NRM bonna bayitiddwa mu kisaawe e Kololo, okusalawo ku muntu agenda okulemberamu ekibiina kyabwe ku bwa sipiika.

Ku Lwokutaano nga 25, omwezi guno Ogwokusatu, Palamenti lw’egenda okulonda sipiika omuggya okudda mu bigere bya Jacob Oulanyah, oluvanyuma entekateeka z’okuziika Oulanyah, zitandiike okutambula obulungi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=JYv8BUYbSnQ