Webuzibidde ng’agava mu State House e Ntebbe, galaga nti akakiiko ka NRM ak’oku ntikko aka Central Executive Committee (CEC) kalonze abadde amyuka sipiika wa Palamenti Anita Among, okuvuganya ku bwa sipiika, okudda mu bigere bya Jacob Oulanyah.

Sipiika Oulanyah yafiiridde mu ggwanga erya America ku Ssande nga 20, omwezi guno Ogwokusatu.

Okusinzira ku sseemateeka w’eggwanga lino, sipiika wa Palamenti singa afiira mu ntebe, Palamenti emirimu tegiddamu kutambula okutuusa nga balonze sipiika omuggya.

Sipiika wakulondebwa, ku Lwokutaano nga 25, omwezi guno Ogwokusatu, 2022.

Olunnaku olw’enkya, aba kabondo ka NRM bakutuula okusalawo kw’ani agenda okulembera ekibiina ku bwa sipiika newankubadde CEC, ku bantu 12 abalemeddeko nga begwanyiza ekyo, Anita Among gwe balonze okulemberamu ekibiina.

Agava mu CEC kiraga nti abamu kw’abo, abavuddeyo nga begwanyiza obwa sipiika basabiddwa, okuvuganya ku ky’okumyuka sipiika, ekibaddemu Anita Among.

Mungeri y’emu, bategezezza nti Palamenti okusigala ng’eri wamu n’okutangira enjawukana, Anita Among yabadde omuntu omutuufu.

Oulanyah, yamaze mu ntebbe y’obwa sipiika ebbanga lya myezi 9 n’ennaku 24, bukya alondebwa nga 24, Ogwokutaano, 2021 era nga ye sipiika wa Palamenti asoose okufiira mu ntebe ssaako n’okuwereza akaseera akatono.

Anita Among, NRM gw’eleese yazaalibwa nga 23, November, 1973 mu disitulikiti y’e Bukedea mu kiseera kino aweze egy’obukulu 48.

Yasoma ebintu ebyenjawulo omuli okubala ebitabo, eby’obusuubuzi ate mukyala munnamateeka.

24, Ogwokutaano, 2021, yalondebwa ku ky’okumyuka sipiika ng’olunnaku olw’enkya, agenda kuweza emyezi 10 ng’ali ku ntebe y’okumyuka sipiika.

Singa alondebwa ku bwa sipiika, agenda kuyingira mu byafaayo nga amyuka sipiika wa Palamenti asoose okuba mu ntebe eyo okumala akaseera akatono.

Wabula n’olunnaku olw’enkya ku Lwokuna, ab’oludda oluvuganya lwe bagenda okutuula, n’abo okusalawo ani agenda okubakulemberamu okuvuganya ku bwa sipiika.