Muk’omusajja akubye omulanga era agaanye okudda mu bufumbo wadde bamukutte ali mu bwenzi n’omusiguze.
Omukazi ategerekeseeko erya Atenyi ali mu myaka 27, mukyala mufumbo ng’alina abaana babiri (2).
Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga, bba ategerekeseeko erya taata Bob yamukutte ali mu kaboozi n’omusajja omulala mu kazigo mu bitundu bye Buziga.
Atenyi yalimbye bba nti agenze kulaba nti muganda we mu bitundu bye Kabalagala nti mulwadde wabula bba yamutaddeko abantu okumulondoola kuba abadde aludde ebbanga nga amwekengera.

Bamukutte ali mu kaboozi

Taata Bob agamba nti mukyala we abadde asukkiridde okutambula nga tewali kumwebuzaako.
Ku ssaawa nga 10 ez’akawungeezi, taata Bob yafunye ssimu nti mukyala we aliko omuzigo gw’omusajja gwe yabadde ayingiddemu.

Taata Bob weyatuukidde nga mukyala we ali mu kaboozi n’omusiguze era yamukutte lubona, okulwanagana ne kutandikirawo.
Atenyi ayogedde!
Atenyi agamba nti wadde mukyala mufumbo, alina okunoonya omuntu ayinza okumuwa ku ssanyu ly’omu kisenge.
Wakati mu kulukusa amaziga, Atenyi yalangidde bba Taata Bob obutamalaako era y’emu ku nsonga lwaki yafunye omusajja ategeera obulungi akaboozi.