Omuyimbi Michael Adebayo Olayinka amanyikiddwa nga Ruger myaka 22 okuva mu ggwanga erya Nigeria akiguddeko, omuwala amunyize ebitundu by’ekyama ng’ali ku siteegi.
Ruger y’omu ku bayimbi abato abali mu kiseera kino mu Nigeria olw’ennyimba ze omuli Dior, Bounce, Snapchat, Pandemic n’endala.
Wabula bwe yabadde ku siteegi, omukyala yamunyize ebitundu by’ekyama era amangu ddala yavudde ku siteegi.
Okusinzira ku vidiyo, Ruger yavudde mu mbeera era yawulidde obusungu kwe kuyimiriza okuyimba olw’ekikolwa ky’omuwala.
Abamu ku bantu abasobodde okulaba ku vidiyo banyivu era abamu bagamba nti Poliisi erina okunoonya omuwala eyakoze ekikolwa ekyo, bamukwate mu bwangu.
Abalala bagamba nti kikolwa kya kutyoboola basajja era omukyala balina okumubonereza.
Vidiyo!
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=lsvYh0wLsBw&t=136s