Ssewanyana ne Ssegirinya si birungi!
Omusajja eyakulemberamu okutta abantu e Masaka, kyaddaki asimbiddwa mu kkooti esookerwako e Masaka mu maaso g’omulamuzi Christine Nantege.
Wilson Ssenyonga amanyikiddwa nga Tony Nyonga agamba nti yapangisibwa, bannakibiina ki National Unity Platform (NUP), abakiise ba Palamenti Muhammad Ssegirinya ow’e Kawempe North ne Allan Ssewanyana ow’e Makindye West, okulemberamu okutematema n’okutta abantu e Masaka.
Ssenyonga agamba nti yatta Joseph Bwanika eyali omutuuze we Kisekka B mu disitulikiti y’e Lwengo, nga 2, Ogwomunaana, 2021, mu kitta bantu ekyali e Masaka wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana, 2021, omwafiira abasukka 20, oluvanyuma namwezikira.
Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Richard Birivumbuka, Ssenyonga alumiriza abakwate Ssegirinya ne Ssewanyana, okutuula ne bateese ku ky’okutta abantu abo ku Happy Boys mu Ndeeba.
Mu bujjulizi, Ssenyonga agamba nti yasindikibwa okutta abantu nga Ssegirinya ne Ssewanyana, balumiriza Gavumenti okuba obuwanguzi bwabwe.
Mu maaso g’omulamuzi Nantege, Birivumbuka asabye kkooti abakwate okubasindika mu kkooti enkulu okwewozaako ku misango gy’okutta abantu.
Wabula abasibe, Ssewanyana ne Ssegirinya nga basinzira ku limanda mu kkomera e Kigo ku nkola eya ‘Zoom’ bavudde mu mbeera ne bewunya obukuusa n’obulimba bwa Birivumbuka.
Bano bagamba nti Ssenyonga tebamulabangako era ebigenda mu maaso mu ggwanga, Gavumenti okuleeta abantu ab’obulimba okuwayiriza, eggwanga lyetaaga ssaala.
Mungeri y’emu bannamateeka babasibe nga bakulembeddwamu, omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago, agamba nti obujjulizi bulimu ebituli ebitagambika nga balinze mu kkooti enkulu, okufuna okuddibwamu.
Lukwago agamba nti betaaga okutegeera, Bwanika engeri gye yattibwamu nga kyewunyisa Ssenyonga eyakulemberamu okutta abantu ate okulwawo okutwalibwa mu kkooti.
Mu kkooti enkulu, bagenda kwewozaako ne misango egyasooka ne basindikibwa mu kkooti y’emu omuli obutemu, obutujju, okuwagira eby’okulwa ebyekitujju n’emisango emirala.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=lsvYh0wLsBw&t=300s