Omukyala ali mu gy’obukulu 40, asangiddwa mu ddwaaliro e Busia mu ggwanga erya Kenya ng’ali mu mbeera mbi oluvanyuma lwa bba okumutematema n’ekiso ssaako n’okumutimpula emiggo.
Omukyala ono nga mutuuze ku kyalo Misaro mu ssaza lye Siaya agamba nti bba, yabadde amulangira, okumulemesa okusinda omukwano, okumala ennaku eziwera.
Wakati mu kulukusa amaziga, omukyala ono Judith Anyago agamba nti yagaana okuddamu okuwa bba ebyalo, oluvanyuma lw’okutegeera nti bba yazuuliddwa nga mulwadde wa siriimu.
Mungeri y’emu agamba nti yazuula Kondomu n’akapale k’omukyala ak’omunda mu nsawo ya bba ak’omukyala omulala, ekiraga nti omusajja asukkiridde obwenzi n’okutambuza obulwadde.
Wabula Rose Kwena, omu ku basawo abali mu kujanjaba omukyala, agamba nti bakoze buli kimu okutaasa obulamu wabula balina okutwala Anyago mu sikaani, olw’engeri gye yatemeddwamu.
Mu kiseera kino omusajja aliira ku nsiko wabula Poliisi ne famire y’omukyala bakwataganyeko, okunoonya omusajja ku misango gy’okwagala okutta omuntu.

Ate Bannansi mu ggwanga erya Algeria basobeddwa olw’ebbeeyi y’ebintu ebyongedde okulinnya ssaako n’okubula, ekivuddeko ebyenfuna okweyongera okusanyalala.
Okusinzira ku bannansi, nga ogyeeko ebintu okulinya ebbeeyi okufuna ebintu omuli buto, amata, tebikyalabika.
Kigambibwa ebintu okweyongera okulinnya, kivudde ku mbeera eyaleetebwawo Covid-19 ssaako n’okulwanagana okugenda mu maaso wakati wa Russia ne Ukraine okuva nga 24, omwezi oguwedde Ogwokubiri, 2022.
Omu ku basuubuzi abakozeddwa ye Samiha Sammer ali mu gy’obukulu 30, agamba nti y’omu ku baludde nga bakola amandaazi, emigaati, Kkeeke ez’okutunda wabula ne ngano eyongedde okubula ssaako n’ebirungo ebirala, ekyongedde okusanyalaza emirimu.

Samiha Sammer (BBC AFRICA)

Bannansi bagamba nti olw’ekisimbo kya basiraamu ekisembedde, ebintu nga buto, byongedde okubula.
Ennyanya zongedde okulinya ebitundu 30 ku 100 wakati mu kutoba okunoonya eky’okulya.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=144yQiVI4Es