Kyaddaki Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo atuukiriza ekigambo kye neyeetondera Obuganda ku bigambo bye, ebyensimatu ebyamusobako mu lumbe lwa Jacob Oulanyah nga 22, March, 2022.

Ssaabalamuzi Owiny Dollo bwe yali akungubagira abadde sipiika wa Palamenti Jacob Oulanyah eyafiiridde mu ggwanga erya America nga 20, omwezi guno, Ogwokusatu, 2022, yakangudde ku ddoboozi, ku bannayuganda abaali bekalakaasa nga bawakanya eky’okutwala Jacob Oulanyah mu ggwanga lya America, okufuna obujanjabi ku ssente y’omuwi w’omusolo.

Mu bigambo bye ebyamusobako ng’ali mu maka g’omugenzi e Muyenga, nga Ssaabalamuzi omutendeke mu mateeka, yalimba ensi nti kyewunyisa abantu okwekalakaasa olw’okusindika Jacob Oulanyah okutaasa obulamu ate nga gyebuvuddeko ne Kabaka Ronald Edward Frederick Kimera Muwenda Mutebi II, bwe yali agenda okufuna obujanjabi mu ggwanga lya Germany, ennyonyi y’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni yeyamutwala, ekintu ekyali eky’obulimba.

 

Nga Ssaabalamuzi Owiny Dollo amaze okulimba ensi, Katikkiro wa Buganda munnamateeka omutendeka Charles Peter Mayiga yavaayo, okutegeeza eggwanga ekituufu.

Katikkiro Mayiga yaddamu okujjukiza Obuganda ne ggwanga lyonna, nti Ssaabasajja, talinyangako nnyonyi ya mukulembeze wa ggwanga lino wabula yasobola okweyambisa ennyonyi ya Kampuni ya KLM bwe yali agenda mu ggwanga erya Germany.

Olw’ebigambo okweyongera okutambula, Ssaabalamuzi Owiny Dollo akkiriza nti yali musobya era akedde ku Bulange e Mmengo okwetonda.

Mu nsisinkano, omutakiriziddwa bannamawulire,  bannadiini bakulembeddwamu Ssaabalabirizi Dr. Stephen Kazimba Mugalu, Ssaabalamuzi Owiny Dollo awerekeddwako abantu be okuli ne yaliko Pulezidenti w’ekibiina ki UPC Olara Otunnu era nga yavuganyako ku bukulembeze bw’eggwanga lino mu 2011 nga baaniriziddwa Katikkiro Peter Mayiga.

Oluvudde mu kwetonda okwekyama, Katikkiro Peter Mayiga ayogeddeko naffe era asiimye Ssaabalamuzi Owiny Dollo okuba omwetowaze.

Mungeri y’emu asabye abantu ba Kabaka ssaako ne ggwanga lyonna okwerabira ebigambo ebibaddewo kuba kati Ssaabalamuzi Owiny Dollo asobodde okwetonda.

Ate Ssaabalamuzi Owiny Dollo awanjagidde bannayuganda okwewala ebintu byonna ebiyinza okwawulamu abantu mu mbeera yonna.

Agamba nti ensisinkano, emukoze bulungi ddala era muvuddemu ebirungi bingi ddala.

Mungeri y’emu asiimye omutindo ogwayolesebwa Katikkiro Peter Mayiga, bwe yali ayanukula ku bigambo bye ebyamusobako.