Abakyala mu kibiina ki National Unity Platform (NUP), bakangudde ku ddooboozi olw’ebitongole ebikuuma ddembe okwongera okusiwuuka empisa ne badda ku bannakibiina ne batulugunya.
Marinos Alexandria nga mutuuze we Mbuya, y’omu ku bakyala abali maziga mu kiseera kino, olw’okuwambibwa mu kusooka abantu abaali mu ngoye eza buligyo.
Omukyala ono myaka 29, wakati mu kulukusa amaziga ku kitebe kya NUP e Kamwokya, agamba nti abasajja bamuggya mu nnyumba ye, nga 30, omwezi oguwedde Ogwokusatu, 2022 ku ssaawa 6 ez’ekiro okutwalibwa mu kifo ekitamanyiddwa.

Marinos era agamba nti mu kutwalibwa, yabuuzibwa ebibuuzo ebyenjawulo omuli Pulaani ya Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine, lwaki ayagala nnyo ennyimba za Bobi Wine, ssaako n’okubuuzibwa ku byogerwa nti mutabani wa Bobi Wine, Solomon Kampala y’omu ku baana abegumbulidde okunywa enjaga.

Abasajja abamutwala okulaga nti balina omutima ogw’ekitujju, bamusibira mu kiyumba ekiro ne bamutimpula emiggo oluvanyuma omu ku basajja yamusobyako nga tewali kusasira kwonna, wabula okutabaala ebyalo, okutuusa bwe yatuuka mu bwengula.
Agamba nti okuwagira Kyagulanyi Ssentamu n’okuva mu kibiina ki National Resistance Movement (NRM), y’emu ku nsonga lwaki yawambibwa n’okutulugunyizibwa.
Mu kiyumba gye yamala essaawa eziwerako, Marinos agamba nti yasuulibwa mu bitundu bye Kitintale nga yenna ali mu mbeera mbi, kwe kufuna owa bodaboda okumutwala eri muganda we okufuna obujanjabi.
Mungeri y’emu agambye nti abasajja, balemeddeko, okwongera okumutulugunya nga ku Easter Monday nga 18, April, 2022, bazzeemu okumulumba nga ku mulundi guno bagidde mu kyambalo omuli omusirikale wa maggye ga Military, Poliisi ssaako n’akulira ebyokwerinda ku kyalo Mugisha Hamudani.

Embeera ezo, y’emu ku nsonga lwaki abakyala mu kibiina ki NUP, bakangudde ku ddoboozi.
Banno, nga bakulembeddwamu omubaka wa Monicipaali y’e Mukono, Betty Nambooze Bakireke, omubaka omukyala owe Kassanda Flavia Kalule Nabagabe nga yakulembera abakyala mu NUP, bagamba nti, bagenda okulemberamu Marinos, okutwala ensonga ze eri sipiika wa Palamenti Anita Among.
Mungeri y’emu bagambye nti Omukyala yenna okusobezebwako, kikolwa kya kutyoboola ddembe lya buntu nga balina okukirwanyisa obutaddamu era embeera ebasukulumyeko ne booza ku munye olwengeri omukyala munaabwe gye yasobezebwako.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=CcB9Lk6cXuU